TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira amakomera awaddeyo obukadde 10 eri abaserikale abasse Kiddawalime

Akulira amakomera awaddeyo obukadde 10 eri abaserikale abasse Kiddawalime

By Ssennabulya Baagalayina

Added 12th April 2018

Akulira amakomera mu Uganda, Dr. Johnson Byabashaija awaddeyo obukadde bwa ssente 10 eri abapoliisi n'abatuuze abasse ow'ebijambiya Muhammad Kiddawalime.

Whatsappimage20180412at42904pm 703x422

Aduumira Poliisi mu Greater Masaka, Latif Zaake y'akwasizza kavvu ono eri akulira poliisi y'e Bukulula, C/ASP Steven Twinomugisha mu maaso g'abatuuze abakung'anye okukakasa nti ddala tekyabadde kiwaani.

RPC Zaake ategeezezza nti ekitongole ky'amakomera ssente kyazitadde butereevu ku akawunti ya OC Twinomugisha kwe zaggyiddwa okugabanyizibwa abaakoze omulimu gw'okutta Kiddawalime abadde yeefudde mukoka mu kutirimbula abatuuze n'ebijambiya olwo ne ne banne ne bakuuliita n'omunyago.

Abazigabanye ye OC Twinomugisha, Sgt.Venance, Cp Godfrey Kafeero, Cp.Mayanja Kyakuwa, Matia Mugejja n'omusawo Resty Nakyambadde.

Buli omu afunye 1,660,000/- bano nga be baabadde abasaale mu kutta Kiddawalime. Abalala batuuse yafudde dda!

Afande Zaake akakasizza abatuuze nti n'abanaayambako mu kukwata Musa Galiwango eyadduse nabo obukadde 10 weebuli okubaweebwa.

Abatuuze beebazizza Gavumenti olw'okutuukiriza kye yeeyamba ne bagamba nti enkola eno bw'eneeyongera mu maaso n'etatiitiibya bazzi ba misango bajja kwongera okugyesika.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu