TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekkanisa yalagajjalira ettaka lyayo - Maj.Gen. Nalweyiso

Ekkanisa yalagajjalira ettaka lyayo - Maj.Gen. Nalweyiso

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2018

MAJ. GEN. Proscovia Nalweyiso agambye nti ekkanisa ya Uganda yalagajjalira ettaka lyayo e Mukono. Era yeegaanye okukuma omuliro mu bantu okukola obulumbaganyi ku Balabirizi.

Nalu 703x422

Maj. Gen. Nalweyiso mu kakiiko eggulo.

Yabadde mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka n’ategeeza nti ekkanisa okusuulirira ettaka lyayo abantu ne balyesenzaako, kiringa Greenland Bank bwe yali yazimbibwa mu maaso ga Bbanka ya Uganda enkulu kyokka n’egwa! Nalweyiso yategeezezza nti yeewuunya olumu yali alaba ttivvi n’awulira omwawule ng’abuulira nti abo Banalweyiso balina ssente bagende banoonye awalala we bagula.

“Oweekitiibwa omulamuzi neewuunya oba ddala ebyo yali abisoma mu Bayibuli! Nze sirwanira ttaka era tolimpulira mu nkaayana za ttaka. Emyaka 63 gye nnina mbadde ku kibanja kya jjajjange era ndi mumativu,” Nalweyiso bwe yaggumizza.

Yasoose kunnyonnyola kakiiko nti ye ekibanja ky’alina kiriko yiika ttaano era alundirako enkoko 20,000/-, alinako ennyumba z’abapangisa era akikolerako enkulaakulana yonna esobola.

Nti kyokka ettaka ekkanisa ly’ekaayanira yalilekawo era terina nkulaakulana gy’erikolerako ky’ova olaba ng’abantu baalyesenzaako.

Bwe baamutegeezezza nti Rev. Dr. John Sennyonyi amyuka Cansala wa UCU (Uganda Christian University), yategeeza nti baali basimbye ebisagazi ku ttaka lino abantu abatiisatiisa ekkanisa okugigoba ku ttaka ne babisaawa ne babyonoona, Nalweyiso yabuuzizza kye baali basimbidde ebisagazi kubanga tebalina nte ze baali bagenda kubiriisa.

Omulamuzi Catherine Bamugemereire, akulira akakiiko yamubuuzizza oba amanyi ku nteekateeka y’ekkanisa nga bwe baategeeza nti bategeka kuzimbako mayumba n’ayanukula nti enteekateeka tagimanyiiko kyokka ettaka baaliragajjalira kubanga naye we yagendera mu lutalo yatambula ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’amalayo ekiseera kyokka yagenda okudda ku kibanja kye, yakisanga nga bwe yakireka.

AYOGEDDE KU TTAKA LY’E NTAAWO

Nalweyiso yagambye nti enkaayana wakati w’Ekkanisa ne famire ya Ham Mukasa ku ttaka ly’e Ntaawo zaatandika mu myaka gya 2000.

Kino ekkanisa ebadde ekimanyi kyokka baasitudde eggye lya Yesu okugenda ku ttaka lye bamanyi nti liriko enkaayana nga tebalina bukuumi.

Yeegaanye eky’okukuma omuliro mu bantu n’agamba nti Rev. Dr. Sennyonyi bwe yabadde mu kakiiko, yannyonnyodde ng’alabika amutidde kubanga bangi balowooza nti abaamagye buli we babeera bagenda n’emmundu. Ettaka eryogerwako liri ku bulooka 99 poloti 9 e Ntaawo - Mukono.

Mu August wa 2016, Abalabirizi b’Ekkanisa ya Uganda bwe baagendayo okulirambula, abantu baali baagala kubookera mu bbaasi.

Ettaka lino ekkanisa erikaayanira ne Famire ya Ham Mukasa nga bagamba nti baali baabawa liizi egenda okuggwaako so ng’ekkanisa egamba nti ettaka Mukasa yaligiwa era mu kiseera kino baalissa mu mannya ga UCH Holdings.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe