TOP

Muzaata komya okunaawuula entalo - Bp Kisekka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2018

OMULABIRIZI w’e Luweero eyawummula, Evans Mukasa Kisekka alabudde Sheikh Nuhu Muzaata Batte akomye okunaawuulanga entalo buli kakedde.

Wagwan 703x422

Yamujjukizza olumu omukolo gwe yaliko n’ayogera nti abatawasa bakyala basukka mu omu sseggwanga y’enkoko ebasinga kubanga ebeera n’enkazi eziwera.

Bp Kisekka bwe yabadde yaakawummuza omuzindaalo ate ne Katikkiro w’ekika ky’Engabi, Sseguya Nsamba n’ayongera okukomerera Muzaata n’amusaba akomye okusosola mu ddiini n’okulumbanga buli omu.

“Enkya n’owulira nti Muzaata yavumye ono, luli yakubye oli, ggwe munnaffe onookomya wa obukambwe?” Nsamba bwe yabuuzizza Muzaata eyabadde anekedde mu kkanzu enjeru n’entalabuusi.

Byabadde ku kyalo Kalasa mu Bulemeezi mu maka g’omugenzi Fredrick Ssebyala ku Lwomukaaga wiiki ewedde ku mukolo gw’okwebaza Katonda olw’emirimu emirungi gye yasobozesa omugenzi Ssebyala okukola mu bulamu.

Kisekka yakuutidde bamulekwa okuba obumu n’omusika wa Ssebyala, Edward Mulindwa n’obutanaawuulanga ntalo.

Bp. Kisekka yagambye nti, “Mwewale okuyombagananga kuba muno mwe muva entalo ezitaliimu kalungi,” Yakyukidde Muzaata n’amusaba ave mu ntalo ezitatadde kuba tezirina gye zimutwala.

Omusika Mulindwa yeebazizza baganda be abakuumye obumu okuva kitaabwe lwe yabavaako, n’abantu b’ekitundu ababakumyekumye mu bbanga ery’omwaka kitaabwe ly’amaze ng’afudde.

Ssozi Ssewannonda eyabadde kalabaalaba w’omukolo bwe yayise Muzaata okwogera eri abantu, ku mulundi guno yalabise nga mukkakkamu.

Muzaata yasiimye bannaddiinii n’akubiriza abantu okusiima emirimu gye bakola kuba si myangu.

“Bannaddiini babalyowa emyoyo, bababuulirira, babasabira ebirungi okuva eri Katonda, ate ne baweesa emikolo gyammwe ekitiibwa naye mmwe mubakolera ki? Mulowooza balya Bayibuli?” Muzaata bwe yabuuzizza.

Omutaka omukulu w’ekika ky’Engabi, Alozius Magandaazi Lubega Ssaalongo yakuutidde bamulekwa n’Abengabi okutwala eky’okulabirako ky’omugenzi Ssebyala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.