TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Trump bamukoledde emmotoka lumamyo: Ssi mmotoka wabula 'musege'!!..

Trump bamukoledde emmotoka lumamyo: Ssi mmotoka wabula 'musege'!!..

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2018

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump, bamukoledde emmotoka lumamyo ezitowa ttani munaana, tesobolwa kukubwa bbomu, endabiramu zaayo teziyitamu masasi, eriko emmundu zi sseruwandula masasi era esobola n’okukuba ttiya ggaasi so nga esobola okuyita mu mbeera yonna singa wabaawo obulumbaganyi obukoleddwa ku bagirimu. Singa emipiira gyayo gyabika emmotoka eno esobola okusigala ng’etambulira ku mpanka zaayo

4b17169b000005780thearmored15millioncadillacwhichcomescompletewitheightm851523560818530 703x422

Emmottoka ya Pulezidenti eno eyakazibwako erya ‘’The Beast’’ egula ddoola za Amerika akakadde kamu n’ekitundu  nga zino zikununkiriza mu za  Uganda obuwumbi mukaaga (oba obukadde 6,000).

Egenda kumukwasibwa mu butongole mu bbanga eritali ly’ewala oluvannyuma lw’abeebitongole ebikessi okugimaliriza okugyekebejja n’okutendeka omugoba waayo. Trump abadde akozesa mmotoka eyali eya Barrack Obama gwe yaddira mu bigere.

Emikutu gy’amawulire e Bungereza ne mu Amerika gigamba nti emmotoka eriko enzigi ezirina omubiri gwa yinsi munaana, era ng’obuzito bw’oluggi lwayo bwenkana (obuzito) bw’oluggi lw’ennyonnyi ey’ekika kya ‘Boeing 707’.

Esobola okutambula n’eyita ku bbomu era bbomu ne bw’ebaluka  teriiko kamogo k'efuna, emmotoka tekwama egende bugenzi mu maaso. Ttanka yaayo ey’amafuta tesobola kukwata muliro nga kitegeeza nti esobola n’okuyita mu muliro ne watabaawo kigituukako.

Munda erimu omukka gw’obulamu (Oxgyen) era singa Pulezidenti aba akubiddwa omukka ogw’obutwa oba okuyita mu mbeera y’ekifo awatali mukka gumala  asobola okweyambisa guno okuba omulamu. Essiddwaamu omusaayi era bwe wabaawo obwetaavu bw’okukyusa omusaayi gwa Pulezidenti kisobola okukolebwa  ng’ali mu mmotoka eno.

Yakoleddwa kkampuni ya  Cadillac. Esobola okutuulamu Pulezidenti n’abamuli ku lusegere basatu era ng’endabirwamu ze zibaawula. Pulezidenti yekka y’alina swiiki esobola okussa endabirwamu zino ng’alina gw’ayagala okwogera naye.

 motoka bama gye yali atambuliramu ne rump gyabadde akyakozesa Mmotoka Obama gye yali atambuliramu ne Trump gy'abadde akyakozesa

Trump w’atuula waliwo essimu kw'asobola okuwuliziganya obutereevu n’omumyuka we era emukwataganya butereevu n’ekitebe ky’ebyokwerinda ekya Amerika ekimanyiddwa nga ‘Pentagon’.

Eriko ebyuma ebiraga w’eba eri (GPS) era abamulondoola basobola okumanya Pulezidenti wonna w’aba agenze. Eriko kamera ezisobola okukwata ebifaananyi  ekiro.

Endabirwamu zaayo ngumu tezisobola kuyitamu masasi wadde okwatika ng’ekubiddwa bbomu. Erimu ebyuma ebisobola okugiyamba obutakwata muliro era esobola okuyita mu mukka.

Singa emipiira gyayo gyabika emmotoka eno esobola okusigala ng’etambulira ku mpanka zaayo. Kino kigisobozesa okuyita ku bbomu yonna nga ne bw’eba ekubiddwa emipiira ne gyabika tekwama.

motoka ya rump empya nga bagigezesa ku luguudo gye buvuddekoMmotoka ya Trump empya nga bagigezesa ku luguudo gye buvuddeko

Eriko emmundu mu mbiriizi zaayo ezisobola okuwandula amasasi ag’okumukumu n’okusanyaawo omulabe singa Pulezidenti agwa mu buzibu.

Agenda okugivuga atendekeddwa mu ngeri ey'enjawulo era asobola okugiweta mu mbeera yonna etali ya bulijjo  singa asanga obuzibu mu kkubo gy’ayita (V turn).

Akulira kkampuni ya Cadillac eyagikoze,  Johann de Nysschen yakakasizza nti emmotoka bagimalirizza ne bagikwasa kasitoma waabwe (gavumenti).

 rump ngamwenyereketa mu mmtoka ekika kya east gye yasikira okuva ku bama amukoledde endala erimu tekinologiya omupya Trump ng'amwenyereketa mu mmtoka ekika kya Beast gye yasikira okuva ku Obama. Bamukoledde endala erimu tekinologiya omupya

 

Omwogezi w’ekitongole ebikessi mu Amerika ekya ‘Secret Service’ yakakasizza nti abantu bajja kutandika okugiraba  mu bifo eby'olukale mu bbanga eritali lye wala. Egenda kuba mu langi nzirugavu ne siriva.

Eno y’emu ku mmotoka 12 ezinaatambuliranga mu luseregende lwa Pulezidenti nga zibalirirwamu ensimbi ezisoba mu buwumbi bwa Uganda 45.

Endabirwamu ya ddereeva waayo  ye yokka esobola okukka singa aba yeetaaga okuwa omusolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda