TOP

Rema Namakula bamutwala Bungereza

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2018

OMUYIMBI Rema Namakula mukyala wa Eddy Kenzo okuva lwe yakola ekivvulu ku Serena Hotel mu Kampala n’akubira abadigize omuziki ogwabasonsomola, ebitaala byeyongera okumuta n’eddiiru za ssente ne ziyingirawo.

Remaserenandijjo4cut 703x422

Rema ne Lutalo bwe bagenda okuttunka

W’osomera bino ng’omukyala ono yakutudde dda ddiiru n’aba Richmond Promoz okugenda e Bungereza okukubira abaayo omuziki.

Agenda kuyimbira mu kivvulu ekituumiddwa ‘‘Bannyabo Wooloolo Concert’’ ekigenda okubeera ku Royal Regency Manor Park.

Eno agenda kuttunka ne David Lutalo, Geo Steady wamu n’omugole Catherine Kusaasira era abadigize beesunga kulaba ani y’ani mu kukuba omuziki gwa laavu.

Maama Armal waafunidde ddiiru eno nga bba Eddy Kenzo yaakavaayo gye yawangulidde n’engule bbiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....