TOP

Togikwatako:Lukwago awozezza

By Musasi wa Bukedde

Added 14th April 2018

Togikwatako:Lukwago awozezza

Luk2 703x422

BALOOYA abaagala kkooti esazeemu etteeka eryaggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti basabye kkooti esazeemu emyaka ebiri ababaka ba palamenti gye beeyongeza bwe baali bayisa etteeka ly’ekkomo ku myaka.

Looya Erias Lukwago Lukwago eyakiikiridde akulira oludda oluwabula gavumenti Winnie Kiiza ye yakoze okusaba kuno ng’agamba nti akawaayiro 2 ne 8 ak’etteeka ly’ekkomo ku myaka obwayongezaayo ekisanja ky’ababaka ba palamenti okuva ku myaka 5 ne batuuka ku 7 bukontana ne Ssemateeka.

Lukwago yeegatiddwaako looya Wandera Ogalo eyakiikiridde ekibiina kya Uganda Law Society ne bagamba nti sipiika yakola emivuyo mingi bwe yali akubiriza palamenti ng’eteesa ku bbago lino era ekisanja ky’ababaka ba palamenti kiteekwa okuzzibwayo ku myaka 5 nga bwe kyali.

Abalamuzi abawulira omusango gwa ‘Togikwatako’ babatadde ku nninga bannyonnyole kkooti ensobi sipiika wa palamentti Rebecca Kadaga ze yakola palamenti bwe yali eteesa ku bbago. Omulamuzi Kenneth Kakuru yabagambye nti okumala googera nti obuwaayiro buno bukontana ne Ssemateeka tekimala balina okuwa kkooti ensonga nayo kw’eneesinziira okukkiriziganya nabo bw’eneeba esala omusango. Lukwago yagambye nti: Enkola palamenti ne sipiika Rebecca Kadaga gye bayitamu okuyisa etteeka lino yali ekontana ne Ssemateeka.

Yagambye nti mu bbago lya Magyezi eky’okwongeza ekisanja ky’ababaka ba palamenti n’aba LC 5 tekyalimu wabula kyakukusibwa ne kigattibwamu era ababaka abeeyagaliza bokka bwe balaba nga nabo balina engeri gye bagenda okuganyulwamu nga bawagidde eky’okukwata mu Ssemateeka nabo kwe kulonda ebbago ne lifuuka etteeka.

Baaleese n’obujulizi bw’ebiwandiiko okuli enteesa za palamenti okuva September 27, 2018- December 19,2018 ebbago lya Magyezi lwe lyaleetebwa mu Palamenti. Obujulizi bulaze nti enfunda bbiri Sipiika yanenya akulira akakiiko k’ebyamateeka, Jacob Oboth -Oboth olw’okwongera ekiteeso ky’okwongezaayo ekisanja ky’ababaka ba palamenti kyokka nga mu nsonga ze yamuweereza akakiiko kateeseeko tekyalimu.

Lukwago yagambye nti n’ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyamateeka tewali mubaka yenna gwe beebuzaako ku kiteeso ky’okwongezzaayo ekisanja kya babaka kyokka bbo ne bakikukusa mu bbago lya Magyezi ekintu ekyali kikontana n’amateeka agafuga entuula za palamenti ne Ssemateeka.

Male Mabiriizi naye yategeezezza abalamuzi nti ensonga y’ababaka okweyongeza ekisanja yali eteekwa okutuukako mu Bannayuganda balonde oba nga bakkiriziganya nabo kubanga be basindika ababaka mu palamenti oluvannyuma lw’okubalonda. Byo ebyokwerinda ku kkooti e Mbale byayongedde okunywezebwa oluvannyuma lwa poliisi okufuna amawulire nti pulezidenti wa FDC yabadde alina abawagizi b’akunga okugenda ku kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte