TOP

Nnaabagereka asiimye obuyambi bwa Ford

By Musasi wa Bukedde

Added 14th April 2018

Nnaabagereka asiimye obuyambi bwa Ford

Kab2 703x422

EKIBIINA kya Ford Foundation ekitumbula embeera z’abantu ng’ekitebe kyakyo kiri New York mu Amerika kyeyamye okwongera okuteeka ssente mu kibiina kya Nnaabagereka Developemnt Foundation (NDF) kisobole okusomesa ku buntubulamu, abavubuka, abaana, abakazi n’okuyamba abantu abatalina mwasirizi.

Enteekateeka eno eyanjuddwa Martin Abregu omumyuka w’akulira Ford Foundation ku bugenyi bw’aliko obw’okunyweza omukago gwe batta ne Buganda naddala ekibiina kya NDF ne Kabaka Foundation okutumbula embeera z’abantu mu Buganda.

Ensisinkano yabadde mu Bulange e Mmengo. Ensisinkano eno yeetabiddwaako ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ne baminisita b’e Mmengo, Nnaalinnya Agnes Nabaloga, ssentebe wa NDF, Dr. Jeff Sebuyira, dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi, abakungu okuva mu bufuzi bw’ensikirano obulala mu Uganda, abakungu b’ekibiina ky’amawanga amagatte UN n’abavubuka. “Tuli wano nga Ford Foundation okuwagira pulogulaamu za Nnaabagereka kubanga mu nkolagana yaffe naye twakizuula nti, ebigenderwa bye bye bimu n’ebyaffe naddala mu kutumbula embeera z’abantu era tugenda kumwongera ensimbi okulaba nti agenda mu maaso ne pulojekiti ze”, Abregu bye yategeezezza.

Nnaabagereka yagambye nti ng’ayita mu Kisaakaate asomesezza abaana bangi naddala ku buntubulamu era ekibiina kye ekya NDF kirina enteekateeka okuva mu 2019 okutuuka mu 2024 okulaba nti abavubuka, abaana, abakazi n’abantu abalala bonna mu ggwanga tebalekebwa mabega mu nkulaakulana kyokka nga tebasudde buwangwa bwabwe. “Twagala buli muntu ali obulungi akwate ku munne bwe tusobola okugenda mu maaso, naye abali obulungi bwe basigala nga bekkusa bokka, tuba tetulina kye tukoze”, Nnaabagereka bwe yagambye.

Nnaabagereka era yatuusizza obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka okwebaza Ford Foundation okuvujjirira ekibiina kya Kabaka Foundation. Katikkiro Mayiga yategeezezza nti Buganda etudde ku masiga asatu okuli Kabaka n’olulyo olulangira, ebika ne kabineeti kw’esinziira okukola entekateeka eyamba abantu n’ategeeza nti Buganda yeenyumiriza mu mulimu gwa Nnaabagereka ogw’okuzza obuntubulamu mu bantu n’okutta emikago nga gino.

Ye Jenniffer Musisi yategeezeza nti baatandikadda okusomesa abaana mu masomero ga KCCA ebintu ebisomesebwa mu Kisaakaate kya Nnaabagereka bafuuke ab’omugaso mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be