TOP

Amerika ekubye Syria bbomu 100

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2018

Amerika ekubye Syria bbomu 100

Deb1 703x422

PULEZIDENTI Donald Trump yasinzidde mu kisenge ekiyitibwa Diplomatic Reception Room mu maka ga White House n’alangirira nti, alagidde eggye lya Amerika okukuba Syria. Zaabadde essaawa 10:00 nga bukya ku Lwomukaaga oba ssaawa ssatu ez’ekiro ku Lwokutaano mu Amerika mu kibuga Washington DC, Trump n’ayogera eri eggwanga.

Yategeezezza nti alagidde eggye lya Amerika okukuba Syria era mu kiro ekyo ekibuga ekikulu ekya Syria, Damascus ne kisattira olwa mizayiro ezaabadde zeesooza mu bwengula. Eggye lya Amerika lyegattiddwaako erya Bungereza ne Bufaransa olwo ne batandika okufukirira Syria bbomu, mizayiro n’emizinga gimutasubwa. Trump eyabadde omukambwe yategeezezza nti kati agenda kubonereza buli aleeta effujjo ne bwe kiba kitegeeza kutwaliramu Putin agenda kukikola.

Amangu ddala nga Trump yaakamala okwogera eri eggwanga, minisita wa Amerika owebyokwerinda Gen. Jim Mattis n’akulira amagye ga Amerika Gen. Joseph Dunford baasinzidde nti kitebe ky’amagye ekikulu ekya Pentagon ne balangirira nti ennumba zitambula bulungi.

Ku mulundi ogwasooka, omwaka oguwedde, Amerika yakuba bbomu ne mizayiro 59 mu Syria n’eyonoona ebisaawe, ennyonyi n’ebifo eby’enkizo naye ku luno, baategeezezza nti, baasindise emizinga ne bbomu ezisoba mu 100 era buli kifo we baaketta bakikubye ne bakiseeteza.

Baaakozesezza omuzinga ekika kya Tomahawk. Gen. Mattis yategeezezza nti kati Pulezidenti Assad n’abamuwaga okuli Putin owa Russia balina kwenenya bokka okubeera n’emputtu kuba babalabudde ekimala okukomya okukozesa omukka ogw’obutwa ku bannansi naye tebawulira. “Tumaze ebbanga nga tulabula Assad akomye okukozesa omukka ogw’obutwa mu bantu tawulira, twamuwadde essaawa 48 yennyonnyoleko ekimukoza effujjo era n’asirika, kati tubadde tetukyayinza kwogera bwogezi era tugenda kumubonereza okutuusa ng’azze mu layini entuufu”, Gen. Mattis bwe yawunzise wakati mu mizinga okwesooza.

MU SYRIA BABUNYE EMIWABO

Okusinziira ku mukutu gwa AFP, bannansi ababadde ku bunkenke bukya Amerika eragaanya kukuba Syria baalabidde awo ng’obwengula bwa Syria bw’akaayakana ebimyanso bya bbomu.

Zaabadde zikunukkiriza ssaawa 3:00 ez’ekiro bannansi ne batandika okubuna emiwabo ng’obwengula bwonna bumyansa olw’ebikompola obwedda byesooza okuva ku buli ludda lw’ekibuga Damascus n’ebirala.

Emiranga n’okwaziirana byawuliddwa ng’abajaasi b’eggye lya Syria abaabadde bategekeddwa okwahhanga emizinga gya Amerika gibabuzizzaako obwekyusizo era bangi baasuddewo emizinga gyabwe ne beetegula ekibabu. Ebibuga bya Syria ebyakubiddwa ennyo mulimu ekikulu Damascus, ekiddako obunene ekya Homs, nga kino kyakubiddwa bikompola bya Bungereza n’ekirala ekya Latakia ekyakubiddwa emizinga egyafulumye e Bufaransa.

Ekitongole kya eky’eddembe ly’obuntu ekya Syrian Observatory for Human Rights ekirina ekitebe mu Bungereza nga kino kirondoola bikolebwa mu Syria kyategeezezza nti, ebibuga ebirala okuli Deraao ekisangibwa mu bukiikakkono bwa Damascus, Palmyra, Raqqa ne Hama nabyo byakubiddwa.

Emizinga n’ebikompola bya Amerika, Bungereza ne Bufaransa byasinze kukuba bisaawe bya nnyonyi, enkambi z’amagye, enfo omugambibwa okuba ppipa z’obutwa n’okwonoona enguudo eziriraanyeewo okusalako abandibadde baleeta obuyambi.

BUNGEREZA ESESEBBUDDE EKIBUGA KUKISEETEZA

Katikkiro wa Bungereza Theresa May bwe yabadde yaakalagira amagye okukuba Syria, yategeezezza banansi nti, Pulezidenti Assad ne Putin tebaabawadde mukisa gwonna gukola kirala okuggyakookubakuba.

Ennyonyi za Bungereza zaasituse okuva mu nkambi ssatu okuva mu kyondo kya Buwarabu ne zisesebbula ekibuga Homs kumpi kukimalawo. Bungereza yakisuddeko bbomu ezisoba mu 70 era buli kyabaddewo ne kisaanawo era ennyonyi zaayo zazzeeyo nga misoni ewedde nga tewali azikoonyeeko yadde okuzeegezaamu. May yagambye nti tebaagala kukyusa Gavumenti ya Assad naye baagala kumumalamu mampaati akomye okutta abantu nga tewali amugambako

Ye Pulezidenti wa Bufaransa Emmanuel Macron yagambye nti olukoloboze olumyufu Assad yalubuuse bwe yakubye abantu be obutwa mu kibuga kye Douma wiiki ewedde kati takyalina ky’azza aleke bamukube atereere.

TWAKUBYE EMIZINGA GYABWE 13 – SYRIA Eggye lya Syria livuddeyo ne litegeeza nti yadde Amerika yakubye enfo zaabwe eziwerako, nabo beerwanyeeko ne bakuba emizinga gya Amerika 13 ne bagireka ku ttaka. Ttivi y’eggwanga yategeezezza nti ebikompola bya Amerika byabasanze beetegese bulungi mu kitundu ky’e Kiswah mu bukiikaddyo bwa Damascus era ebikompola bya Amerika olwayingiddeyo ne bazza omuliro okukkakkana nga 13 bikubiddwa.

Wabula Pentagon bino yabisambazze n’esaba Syria ereete obujulizi nti waliwo ebikompola byabwe ebyakubiddwa. Yategeezezza nti buli mizayiro eyasindikiddwa yabaddeko kkamera ez’omulembe era obwedda entambula zaayo bazigoberera okuva mu Amerika ne komputya okuziragirira tageti era zaazikubye bulungi.

AMERIKA EGENDA KUWULIRA EKITUVAAMU - PUTIN Amangu ddala ng’ebikompola bya Amerika, Bufaransa ne Bungereza bitandise okusesebbula Syria, minisita wa Amerika owebyokwerinda Gen.

Mattis yategeezezza nti olulumba luno balukoze tebatemezza ku Russia era kati nayo ya ddembe okukola ky’eyagala naye bbo batandise okukuba. Ebigambo bino byayongedde okunyiiza Russia era n’erangirira nti kati ekigenda okuddako ensi ekirindirire. Omubaka wa Russia mu Bungereza, Antonov yategezeeza nti byonna ebikoleddwa ensi ebirabye kati ebinaddirira ensi ebinenyeze Trump, Bungereza ne Bufaransa.

TRUMP YASOOSE KULAGIRA EMMEERI 12 ZOOLEKERE SYRIA

Nga tannalangirira kutandika kukuba Syria, ku Lwokutaano Donald Trump yasindise emmeeri endala 12 wakati mu kwetegekera olutalo. Emmeeri zino zaabadde zikubyeko ebyokulwanyisa eby’enjawulo okuli ennnyonyi ennwanyi.

AmeriKa yakoma okukola ekintu kino mu 2003 bwe baali balumba Iraq. We yakoledde kino nga Pulezidenti Assad atandise okusembeza ebyokulwanyisa bye okumpi n’enkambi za Russia ng’agamba nti kale k’alabe Amerika bw’enaamira ppini okukuba okumpi n’ebyokulwanyisa bya Russia.

Emmeeri zino 12 ennwanyi we bwazibidde nga zimaze nga ziri mu kyondo Buwarabu era obudde olwazibye ne baziwa ekiragiro ne zitandika okusuula bbomu n’okwokya buli kintu.

Ye Pulezidenti wa Bufaransa Emmanuel Macron yagambye nti olukoloboze olumyufu Assad yalubuuse bwe yakubye abantu be obutwa mu kibuga kye Douma wiiki ewedde kati takyalina ky’azza aleke bamukube atereere. TWAKUBYE EMIZINGA GYABWE 13 – SYRIA Eggye lya Syria livuddeyo ne litegeeza nti yadde Amerika yakubye enfo zaabwe eziwerako, nabo beerwanyeeko ne bakuba emizinga gya Amerika 13 ne bagireka ku ttaka. Ttivi y’eggwanga yategeezezza nti ebikompola bya Amerika byabasanze beetegese bulungi mu kitundu ky’e Kiswah mu bukiikaddyo bwa Damascus era ebikompola bya Amerika olwayingiddeyo ne bazza omuliro okukkakkana nga 13 bikubiddwa. Wabula Pentagon bino yabisambazze n’esaba Syria ereete obujulizi nti waliwo ebikompola byabwe ebyakubiddwa. Yategeezezza nti buli mizayiro eyasindikiddwa yabaddeko kkamera ez’omulembe era obwedda entambula zaayo bazigoberera okuva mu Amerika ne komputya okuziragirira tageti era zaazikubye bulungi. AMERIKA EGENDA KUWULIRA EKITUVAAMU - PUTIN Amangu ddala ng’ebikompola bya Amerika, Bufaransa ne Bungereza bitandise okusesebbula Syria, minisita wa Amerika owebyokwerinda Gen. Mattis yategeezezza nti olulumba luno balukoze tebatemezza ku Russia era kati nayo ya ddembe okukola ky’eyagala naye bbo batandise okukuba. Ebigambo bino byayongedde okunyiiza Russia era n’erangirira nti kati ekigenda okuddako ensi ekirindirire. Omubaka wa Russia mu Bungereza, Antonov yategezeeza nti byonna ebikoleddwa ensi ebirabye kati ebinaddirira ensi ebinenyeze Trump, Bungereza ne Bufaransa. TRUMP YASOOSE KULAGIRA EMMEERI 12 ZOOLEKERE SYRIA Nga tannalangirira kutandika kukuba Syria, ku Lwokutaano Donald Trump yasindise emmeeri endala 12 wakati mu kwetegekera olutalo. Emmeeri zino zaabadde zikubyeko ebyokulwanyisa eby’enjawulo okuli ennnyonyi ennwanyi. AmeriKa yakoma okukola ekintu kino mu 2003 bwe baali balumba Iraq. We yakoledde kino nga Pulezidenti Assad atandise okusembeza ebyokulwanyisa bye okumpi n’enkambi za Russia ng’agamba nti kale k’alabe Amerika bw’enaamira ppini okukuba okumpi n’ebyokulwanyisa bya Russia. Emmeeri zino 12 ennwanyi we bwazibidde nga zimaze nga ziri mu kyondo Buwarabu era obudde olwazibye ne baziwa ekiragiro ne zitandika okusuula bbomu n’okwokya buli kintu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa