TOP

Alumye muggya we akafi ku kutu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2018

Alumye muggya we akafi ku kutu

Jip2 703x422

POLIISI ekutte bakazibaggya abaalwanaganye omu n’alumako munne okuttu ng’entabwe eva, ku mugole okwefuga omusajja natuuka n’okumugaana okuwa omwana wa mukyalamukulu obuyambi.

Mariam Nalwanga, 35, mukyala mukulu ne Cissy Nakabuubi, 30, omugole eyaakamala mu bufumbo ne Hamza Kayima 27, emyezi mukaaga be baasowaganye. Ku Lwokusatu, Nalwanga yavudde ewuwe nagenda mu maka ga Nakabuubi okusaba Kayima obuyambi bw’omwana kyokka olwatuuse n’atandikirawo okuyombesa muggya we ng’amulanga okwezza omusajja n’atuuka n’okumugaana okulabirira omwana we.

Kayima omusawo w’ekinnansi alina essabo mu Zooni ya Ssebina mu muluka gwa Makerere III e Kawempe ng’era lye likola ng’enju ne mukyala we Nakabuubi ng’ate Nalwanga asula mu Kibe zooni ng’era mukozi wa KCCA akola gwa kwera .

Oluyombo lwavuddemu lutalo era okukkakkana nga Nakabuubi agudde ekiyiifuyiifu ku Nalwanga n’amulumako akafi ku kutu okwa ddyo n’akawandula wali! Nalwanga kyamususseeko era kwe kuddukira ku poliisi y’oku Kaleerwe gye yatuuse ng’atonnya omusaayi. Oluvannyuma omumyuka w’akulira poliisi eyo, Twairi Kasembezza yasitukiddemu n’ekwata Kayima ne kabiite we Nakabuubi babitebye.

Wabula olwatuuse ku poliisi bakazibaggya bano buli omu n’alangira munne obutaba na ‘waaka’ era Nakabuubi n’aggulwako omusango ku fayiro SD:28/11/04/2018.

Baliraanwa ba Kayima baategeezezza nti akyalina enkolagana y’omukwano ne mukyala we omukulu ng’eby’okugamba nti yamukyawa ayagala kusanyusa mugole nga wano we baamusabidde ayimirire ku magulu ge ng’omusajja abuulire omugole nti maama w’omwana ye mukyala omukulu asale n’ebiyungu. Kyokka Kayima bakira amwenya bumwenyi ng’alabika abantu be bombi abalinamu ekyama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA