TOP
  • Home
  • Essomero
  • Ebintu abasomesa n’abazadde bye balina okufaako obutafuula kusoma kibonerezo

Ebintu abasomesa n’abazadde bye balina okufaako obutafuula kusoma kibonerezo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2018

OKUSOMA gwe musingi okuzimbirwa obulamu bw’omwana era kwa mugaso. Kyokka waliwo ebinyigiriza omuyizi n’okumubonyaabonya ekisusse n’atuuka n’okulowooza nti okusoma kibonerezo.

Soma 703x422

Omukulu w’essomero, Ernest Kavulu ng’ayogera eri abayizi. Enkolagana ennungi eyamba abayizi okusoma obulungi.

Bino bwe bitafiibwako masomero na bazadde, byandikyayisa omwana okusoma n’atuuka n’okukuddukamu Frances Atima, amyuka kaminsona w’omutindo gw’ebyenjigiriza mu minisitule y’ebyenjigiriza yagambye nti bassaawo enkola erina okugobererwa amasomero n’abazadde okulaba ng’omwana asomera mu mbeera ennungi.

Wabula bingi baabiziimuula ne kivaako okusoma okufuuka ekibonerezo eri abayizi.

l Okugeza twateekawo obudde abaana ba nassale bwe balina okutuuka ku ssomero ku ssaawa 2:30 ez’oku makya , ne bamala ku ssaawa 6:30 ez’omu ttuntu. Ate abasigadde abakulu ne bamala okusoma ku ssaawa 9:30 ez’olweggulo.

l Okuva ku 9:30 okutuuka ssaawa 10:30, obwo budde balina kukoleramu byamizannyo omuli; okuyimba, okuzina, okubaka, omupiira, okuzannya emizannyo, okudduka n’ebirala olwo ne badda eka.

l Etteeka ku nneeyisa y’abasomesa nalyo lyakolebwamu ennongoosereza ne tuggyawo ebibonerezo ebikakali mu masomero naddala okukuba abayizi kibooko.

Engeri okusoma gye kufuuka ekibonerezo Edward Kasole Lwanga Bwereere, munnabyanjigiriza yagambye nti embeera y’ebyenjigiriza eriwo ennaku zino tusaana twesabire kuba butwa bwennyini, tutudde ku bbomu, teyagazisa baana kusoma, abaana kati bayita mu mbeera ya kutulugunyizibwa, basoma lwa naakola ntya.

Tewakyali kwagala, abasomesa tebakyalina mukwano eri abaana, babasomesa n’obukambwe obususse n’okubatulugunya, omwana n’agenda ku ssomero si lwa kwagala, wabula okusindiikirizibwa.

Abasomesa okuganza abayizi, n’atawa muyizi mukisa kugaana oba kukkiriza kuba aba muto, omwana atuuka nga talina ngeri ki yakugamba muzadde ate nga n’omusomesa amutya, n’asomera bwatyo mu mbeera y’okutulugunyizibwa era embuto z’abaana abato abasoma bangi za basomesa, ate abazadde tebakyawa baana budde kutuula kwogerako nabo kumanya bibaluma.

Abaana okutandika okusoma nga bato; osanga omwana ali mu myaka ebiri ng’atwalibwa ku ssomero, ate awatali kufiibwako kwenkana kwa muzadde, kale omwana ono akyawa mangu okusoma.

Okusiiba enjala ku masomero; wadde gavumenti yateekawo enkola ya bonnabasome, naye abaana bangi bava awaka nga tebalina kyebalidde ate ne ku ssomero ne basiiba enjala.

Kizibu omwana omuyala okwagala okusoma wadde okukwata ebimusomesebwa. akola ensobi nnyingi ezimuviiramu ebibonerezo n’akyawa okusoma.

Okuva ku ssomero ekiro; abayizi abamu naddala ab’ebibiina bya waggulu, bakeera nnyo ku masomero ate ne bateebwa ekiro okudda awaka.

Osanga abaana ssaawa nnya ez’ekiro abava ku masomero, ng’ate baweereddwa ne by’okukolera awaka nga ssinga addayo ku ssomero nga tabikoze aba ajja kubonerezebwa.

Omwana oyo atwala okusoma ng’ekibonerezo era akukyawa n’asoma lwa naakola ntya naye nga takulinaamu kwagala.

Okusula obubi; amasomero g’ebisulo mangi gasuza bubi abaana.

Ebisulo ebicaafu ennyo ate nga basula kumu kumu oluusi abaana ne basula abasukka mu omu ku katanda, ate waliwo abaana abato abakeezebwa okutwalibwa mu kisulo, n’osanga omwana myaka ena ali mu kisulo, taliiko mukwano gwa muzadde, ekimutamya okusoma.

Endya embi; amasomero mangi galiisa bubi abaana, ne babatamya okusoma ng’abeera ku ssomero naye ng’alinda lunaku lwa kuwummula kuddayo eka.

Okubulwa ebikozesebwa ku ssomero; amasomero agamu galina omujjuzo gw’abaana naye nga tegalina bikozesebwa nga;

Entebe ng’abayizi abamu bayimirira buyimirizi mu bibiina okusoma, kino nakyo bakitwala ng’ekibonerezo. Okutambual ehhendo empanvu; amasomero naddala ag’omu byalo abaana batambula ehhendo empanvu ennyo okugenda ku masomero, ne weesanga omwana wa pulayimale ng’atambula mayiro ttaano okugenda ku ssomero ate n’azitambula okudda awaka, oyo naye okusoma ayinza okukiyita ekibonerezo.

Okutikka abayizi eby’okukola ebibasusseeko, weesanga nga buli ssomo omuyizi ly’akola oluvannyuma lw’okusoma, omusomesa ate amutikka eby’okukolera awaka, omwana nadda eka nga by’alina okukola kumpi alinga akyali ku ssomero, bimuyitirirako n’akitwala ng’ekibonerezo.

Ebibonerezo ebigabibwa ku masomero bisukka, abayizi balimisibwa, okusaawa essomero, okulongoosa essomero lyonna, okukima amazzi n’ebirala bino nabyo bibaleetera okutwala okusoma ng’ekibonerezo. Obuzibu obuva mu bayizi okukyawa kusoma Frances Atima, yagambye nti bino bye biyinza okutuuka ku muyizi ssinga okusoma kufuuka ekibonerezo;

  1. Omwana ssinga tasomera mu mbeera emweyagaza kye kitera okuvaako obutamalaako kutuuka ku ttendekero. Yeekyawa okukkakkana ng’adduse ku ssomero gafunayo ekirala ekimuwa emirembe.
  2. Abaana abasomera mu mbeera eteeyagaza batera okukosebwa mu kusoma. Oli ayinza okuba ng’abadde akola bulungi wabula olw’okweraliikirira emiggo oba enjala n’atandika okuddirira mu kusoma.
  3. Omwana olw’okutya ennyo oluusi balumbibwa endwadde. Dr. Dan Kyobe yagambye nti kyangu okulumbibwa obulwadde bw’omutima kubanga abeera yeekanga buli kiseera. Ate ne bwe baba basula bubi mu mbeera ey’omugotteko kyangu okulumbibwa endwadde z’omutima kuba tebafuna mpewo emala. Olw’okuba omwana abeera tawummula kimala abamu balumwa emitwe buli kiseera.
  4. Abasomesa abamu mu kubonereza abaana mu bukambwe babatuusaako ebisago oluusi ne balemalira ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Basindise abakessi okwongera okuyigga musajja wa Gen. Kayihura eyabulira mu Algeria.Balooya ba Kitatta basobeddwa,...

Upa 220x290

‘Asooka okumalawo y’alya eya munne...’...

BASSENTEBE e Semuto-Nakaseke olwamaze okusabirwa ne badda mu kugabula abalonzi baabwe nabo abataalutumiddwa mwana...

Uni 220x290

Yiiii.... Maama gano mazina ki?...

OMUZIKI ogwabadde gusindogoma gwanyumidde abavubuka b’e Lukaya.

Beb1 220x290

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi...

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi banne; Ategese Concert ey'okuyamba abalwadde b'emitima

Sha 220x290

Sharitah avuddeyo gy’abadde yeekukumye...

SHARITAH Mazzi Mawanvu avuddeyo gy’abadde asirikidde n’agendako mu jjiimu n’okuwuga ndowooza akkakkanye ku situleesi...