TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyafuula yaaya muganzi we bimutabuseeko bw'amulumirizza okumukaka omukwano

Eyafuula yaaya muganzi we bimutabuseeko bw'amulumirizza okumukaka omukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2018

HAWUSIGAALO mukama we we gwe yakaka omukwano n'amufuula mukazi we atabukidde mukama we bw’amuloopye ku poliisi y’e Kawempe ng’amulumiriza okumukaka omukwano n’okumulyazamanya ssente 1,680,000 zaakoledde emyezi 8.

Lwana0 703x422

Kinyawonyawo ku (ddyo) ng'aliko byannyonnyola Poliisi. Mu katono ye Biira. EBIFAANANYI BYA REGINAH NALUNGA

BYA REGINAH NALUNGA

Jovia Biira (26) omutuuze w’e Kawempe Mbogo ye yaloopye Amos Kinyawonyawo Muhindo (32) ku poliisi  y’e Kawempe ng’amulumiriza okumuleeta ng’omukozi w'awaka  kyokka n'amwefuulira n'amukaka omukwano ng’ayagala afuuke mukyala we.

Biira yategeezezza nti yasisinkana  Muhindo e Nsambya mu September w’omwaka oguwedde (2017) n'amusaba amuyambeko ku mirimu gy’awaka nga buli lunaku alina okumusasula ssente 6,000/-  kyokka buli lw’abadde amusaba omusaala gwe, ng’amugamba nti aguminkirize n’ekirala talina kumupapya kuba   mukyala we.

“Nze sikkaanyangako na Muhindo kubeera mukyala we wabula najja nga muyambi wa waka. Njagala ansasule ssente zange  zenkoledde emyezi munaana, kuba mu kujja twali tulagaanye ansasule 6,000/= buli lunaku kyokka bwe yalaba mmukolera bulungi emirimu gye okuli; okwozza engoye, okufumba n’okunoona amazzi, n'anyongeza omusaala okutuuka ku 7,000 buli lunaku kyokka zaali za bigambo kuba abadde tansasula nga kumpi nkolera mmere,” Biira bwe yannyonnyodde.

Yayongeddeko  nti Muhindo  yamufunyisa n’olubuto ebyembi ku ntandikwa y’omwaka guno ne luvaamu, kyokka yasaba Muhindo ssente 150,000/= ez’okwejjanjabisa n’agaana okuzimuwa.

Yakalambidde n’asaba abasirikale ku poliisi  e Kawempe bamuyambeko waakiri bakwate  Muhindo avunaanibwe  olw’okumukaka omukwano n’okugaana okumusasula ssente z’akoledde ebbanga ely’emyezi omunaana.

inyawonyawo ku ddyo ngaliko byannyonnyola oliisiKinyawonyawo ku (ddyo) ng'aliko byannyonnyola Poliisi.

 

MUHINDO ABISAMBAZZE

Muhindo obwedda yeakangabiriza ng’agamba nti  byonna Biira by'ayogera bulimba obuwedde emirimu kuba yamusisinkana ne basiimagana  ng’abantu abakulu okukakkana ng’amututte ewaka we mu minisipaali y’e Kawempe era  ebbanga lyonna abadde mukyala we nga bafumbo.

Yagasseeko nti aludde ng’asaba Biira okumutwala ewaabwe alabe ku bazadde be kyokka ng’amulemesa n'agamba nti yalabye amulemeddeko kwe kumwecangirako.

Wabula omuku ku mikwano gya Muhindo ataayagadde kwatuukiriza mannya, yagambye nti Muhindo ne Biira babadde bafumbo  kyokka entabwe yavudde ku Muhindo kuwasa mukyala mulala  ekyaggye Biira mu mbeera  olw’obuggya n'addukira ku poliisi okwesasuza Muhindo.

POLIISI EBIYINGIDDEMU                                   

Abraham Bbale omutabaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijo e Kawempe yavumiridde eky'abakozesa okutyobola  eddembe ly'abakozi nga beefudde ababayamba.

Yagambye okukaka omuntu omukwano nga temumaze kukkaanya guba musango muloope n’agamba nti bagenda mu maaso n’okunoonyereza bwe kinaazuulibwa nti Muhindo yatuusa ku Biira obuliisamaanyi, waakukangavulwa.

Oluvannyuma Bbale  yabasabye bakkaanye, Muhindo asasule Biira ssente ze 1680,000 z’akoledde emyezi munaana  asobole okumuviira kyokka yasobodde okumuwaako 50,000/= .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gata 220x290

Atutte malaaya ku poliisi lwa kumumma...

OMUSAJJA atabuse ne malaaya gwe yaguze okwesanyusaamu n’amutwala ku poliisi oluvannyuma lw’okumulumiriza okumuwa...