TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi erabudde abantu abasusse okwewamba bafune ssente

Poliisi erabudde abantu abasusse okwewamba bafune ssente

By Eria Luyimbazi

Added 16th April 2018

POLIISI egudde mu nkwe ezitegekebwa abantu abenjawulo mwe bayita okwewamba ne bakanda abooluganda ne mikwano gyabwe ssente.

Emiliankayimanewmarch703422 703x422

POLIISI egudde mu nkwe ezitegekebwa abantu abenjawulo mwe bayita okwewamba ne bakanda abooluganda ne mikwano gyabwe ssente.

Kino kiddiridde poliisi ya Old Kampala okukwata omukazi Marian Uwase eyapanze olukwe lw'okwewamba n'asaba obukadde 25 okuva ewa muganzi we nti abazigu abaamuwambye bazeetaaga okumuyimbula.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima yagambye nti Uwase olukwe luno yalupanze n'eyali muganzi we eyasooka n'ekigenderwa ekyokuggya ssente ku muganzi we omupya.

"Wadde nga waliwo ekizibu ky'okuwamba abantu mu ggwanga ekiwanisizza abantu emitima, waliwo ate ababireeseemu katemba bwe basazeewo okwewamba n'ebigenderwa by'okufuna ssente naye bano tubatebuse baakwatiddwa ne baggalirwa," Kayima bwe yategeezezza mu lukung'aana lw'abaamawulire.

Yagambye nti Uwase olwalabye nga ssente teziweerezebwa ne yeetwala ku poliisi wabula n'ategeeza  abeebyokwewamba nga eby'okumuwamba bwe bibadde ebifu oyo n'aggalirwa.

Mu ngeri y'emu, Kayima yategeezezza nga poliisi y'e Kiteezi bw'ekutte abantu bataano abaawambye omwana n'ekigendererwa ky'okusaba bazadde be ssente.

Yagambye nti abantu okuli; Livingston Nsamba, Juliet Nakaweesi, Sharon Kisaakye, Asin Namagembe ne Vincent Kyeswa baawambye omwana; Galvin Nakitende ow'e myaka ebiri (20 ku nnyina, Deborah Namugga ne bagezaako okusaba ssente wabula poliisi n'ebatebuka ne bakwatibwa ne baggalirwa.

Kayima yagasseeko nti buli musango gw'okuwamba omuntu poliisi egukwata n'okwegendereza kuba ekizudde nti abamu bapanga okwewamba bafune ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gata 220x290

Atutte malaaya ku poliisi lwa kumumma...

OMUSAJJA atabuse ne malaaya gwe yaguze okwesanyusaamu n’amutwala ku poliisi oluvannyuma lw’okumulumiriza okumuwa...