TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ambasada Ssemuddu akubye mukazi we lwa kumukuba mugongo

Ambasada Ssemuddu akubye mukazi we lwa kumukuba mugongo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2018

Ambasada Ssemuddu akubye mukazi we lwa kumukuba mugongo

Kub2 703x422

Mukyala wa Dr. Ssemuddu eyaweereddwa ekitanda mu ddwaaliro e Nsambya ng’alaga ebiwundu bye yafunye. Mu katono waggulu bw’afaanana.

OMUBAKA wa Uganda e Saudi Arabia, Dr. Yahaya Rashid Ssemuddu atabuse ne mukyala we n’amukuba. Omukyala yatwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambya ng’anyiga biwundu ebyamutuusiddwako Dr. Semuddu agamba nti mukazi we ayitirizza okumukuba omugongo!

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano, Dr. Ssemuddu bwe yatabuse ne mukazi we Rukaya Abdul Rahma gw’alinamu abaana mukaaga n’amukuba ekyamuviiriddeko okutwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya okujjanjabwa.

Rukaya eyasangiddwa mu ddwaaliro e Nsambya gy’ajjanjabirwa yategeezezza nti Dr. Ssemuddu asusse okumutulugunya n’okumukuba bwe baba bafunye obutakkaanya nga kino akikola nga n’abaana balaba. “Kyendiko sikitegeera kuba mu bufumbo bwendimu n’omwami wange Dr. Ssemuddu omusajja ow’ekitiibwa naye asussizza okunkuba olutatadde kati laba ndi ku kitanda nyiga biwundu,’’ Rukaya bwe yategeezezza. Yagambye ku Lwokutaano nti ekyamukubizza kyavudde ku kumukuba mugongo ( okumumma omukwano) nga wano Ssemuddu we yaggye obusungu.

Obwedda Semuddu amufuntula amubuuza kye yeeyita okumukuba omugogo ng’ate yamuwasa kwe kukimussaako nti yandiba ng’aliko abasajja abalala baaganza olwo ye (Semuddu) bw’abaako by’asaba ng’omukazi yeerema! Yategeezezza nti ye talina musajja mulala gw’aganza kuba ye awa obufumbo bwe ekitiibwa kyokka nga Dr. Ssemuddu alowooza nti abaligira mu bufumbo bwe bamazeemu emyaka 23 mw’agamba nti alabiddemu ennaku etegambika.

Yagambye nti embeera y’okumutulugunya yamuleeterako n’okwagala okwetta nga takyasobola na kugenda mu baaluganda lwe ate nga ne muggyawe asussizza okumuvuma n’okumuwemula. “Bbaffe yalemwa okufuga muggya wange, omukazi ampemula buli wanfunirako n’anfuula omuntu atategeera,” Rukaya Hamda bw’annyonyola.

Yannyonnyodde nti abooluganda lwe bwe baatutte ensonga z’okumutulugunya ku poliisi e Kajjansi ate abaseirikale be baatukiddeko ne basooka okubaggalira nga tebaagala kuggulawo musango kyokka oluvannyuma ne baggulawo omusango gw’okumukuba oguli ku fayiro SD 32/13/04/2018.

Yagambye nti ayagala Dr. Ssemuddu atereeze empisa ze okusobola okutereeza amaka gaabwe kuba n’abasajja baamulumiriza okumusigula baazigonjoola nga waliwo ne musangi we, Ali Muhammad eyasibiddwa ng’amuteebereza okumwagala so nga talina ky’amanyi.

Mariam Ahmed muganda wa Rukaya yagambye nti bakooye Dr. Ssemuddu okukuba muganda waabwe era ne bamusaba bw’aba amukooye amuzzeeyo mu bazadde be kuba tebaamumuwa kumutulugunya ekimutuusizza ku kitanda.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate yagambye nti fayiro y’omusango egenda kuggyibwa ku poliisi e Kajjansi etwalibwe ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli ensonga zeetegerezebwe. Yagambye nti Dr. Ssemuddu agenda kuyitibwa okubaako by’abuuzibwa ku byatuuse ku mukazi we oluvannyuma akole sitatimenti.

Wabula Dr. Ssemuddu teyafunise kutangaaza ku nsonga eno. Ssentebe w’ekitundu Ssemuddu mw’abeera ekya Cell ya Kitende B, David Mulugga yategeezezza nti mu ofiisi ye tafunangako kwemulugunya kuva mu bafumbo bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Basindise abakessi okwongera okuyigga musajja wa Gen. Kayihura eyabulira mu Algeria.Balooya ba Kitatta basobeddwa,...

Upa 220x290

‘Asooka okumalawo y’alya eya munne...’...

BASSENTEBE e Semuto-Nakaseke olwamaze okusabirwa ne badda mu kugabula abalonzi baabwe nabo abataalutumiddwa mwana...

Uni 220x290

Yiiii.... Maama gano mazina ki?...

OMUZIKI ogwabadde gusindogoma gwanyumidde abavubuka b’e Lukaya.

Beb1 220x290

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi...

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi banne; Ategese Concert ey'okuyamba abalwadde b'emitima

Sha 220x290

Sharitah avuddeyo gy’abadde yeekukumye...

SHARITAH Mazzi Mawanvu avuddeyo gy’abadde asirikidde n’agendako mu jjiimu n’okuwuga ndowooza akkakkanye ku situleesi...