TOP

Museveni asisinkanye bannaddiini ne boogera

By Muwanga Kakooza

Added 16th April 2018

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye bannaddiini n’abakunga okumuyambako okulwanyisa omuze gw’okukutulakutula mu ttaka n’okuligabana nga bannannyini lyo bafudde.

Kola 703x422

Omusumba Matte (ku kkono), Dr. Lwanga, Bp. Ntangali n’omusumba Lwere.

Yabasabye n’okweyambisa enzikiriza okukyusa embeera z’abantu naddala okubaggya mu bwavu.

Bannaddiini bano abeegattira mu kakiiko akagatta enzikiriza “Inter Religious Council of Uganda’’ baakulembeddwa Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Klezia ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga.

Kwabaddeko Mufti Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje, Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Stanley Ntagali, Ssaabalabirizi w’Abadiventi Pastor Daniel Matte ne Bishop Joshua Lwere ow’ekibiina ekigatta amakanisa g’Abalokole ekya Fellowship of Born Again Pentecostal Churches of Uganda.

Pulezidenti yabagabudde ekijjulo mu maka ge e Rwakitura oluvannyuma lw’okubalambuza pulojekiti z’enkulaakulana e Ibanda ne Rwakitura.

Yabakunze okumwegattako okulwanyisa omuze gw’okugabana ettaka ly’abafu kuba abantu basigaza obutundu butono bwe batalina kye bayinza kukolerako kyegasa. N’agamba nti mu mawanga agamu ag’ebweru nga German, kino kimenya mateeka.

Yagambye nti okusoomoozebwa Uganda kw’erina kwe kukyusa endowooza z’abantu okubaggya ku by’okulima emmere ey’okulya badde mu kulunda n’okulima okufuna ssente.

Yagambye nti alwanaganye n’okukyusa embeera z’abantu b’e Kiruhura ne Ibanda okubaggya mu by’okutambulanga n’ente okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala n’okubakubiriza okujjumbira okulunda okutambulira ku mulamwa gw’okufuna ssente.

N’agamba musanyufu okulaba ng’enfuna y’abantu etandise okukyuka naddala oluvannyuma lw’okubakunga okutandika okulunda ente Enzungu.

Pulezidenti yagambye nti oluvannyuma lw’okulwanyisa obwavu mu byalo ky’agenda okuzzaako kwe kulwanyisa obwavu mu bibuga.

Era yakunze bannaddiini okukomawo okulambula ekitundu balabe ebituukiddwaako gavumenti ya NRM mu kulwanyisa obwavu.

Ssaabasumba Lwanga yasabye bannaddiini banne okukolerera okwegatta kw’abantu bonna n’agamba nti ebibiina ebitambulira ku musingi gw’eddiini bigenda kufuba okulwanyisa obwavu mu maka.

Lwanga yagambye nti nga Pulezidenti bwe yayingira Kampala (ng’awamba) ayagala agende mu bitundu by’egwanga byonna ng’alwanyisa obwavu.

Mufti Mubajje yagambye nti bajja kubuulira enjiri nga bwe balwanyisa n’obwavu.

Omusumba Matte ow’Abadiventi n’agamba nti musanyufu olw’enkola ya Pulezidenti ey’okulwanyisa obwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmin1 220x290

Minisita Nakiwala ayingidde mu...

Omuwala Julian Ainambabazi (30) eyali akola mu bbaala emu e Mukono n’aganzibwa omubaka wa palamenti owa Samia Bugwe...

Chelseacahill 220x290

Cahill akooye bbenci

Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okugula Cahill kyokka eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu Premier....

Loodi 220x290

Bano babeera wa nga Lukwago bamusika...

LOODIMEEYA Erias Lukwago y’omu ku bannabyabufuzi abazze bafuna okusoomoozebwa n’okutulugunyizibwa abaserikale....

United 220x290

Ebizibu bye ndabidde mu laavu mbikubye...

NZE Justine Nalweyiso 24, mbeera Kyebando Nsooba ndi muyimbi nga nnaakayimba ennyimba okuli Bbebi Ndunya, Ndaba...

Newsengalogob 220x290

Njagala ayimba oluyimba lw'eggwanga...

NKOZE ntya mukazi wange asobole okuyimba oluyimba lw’eggwanga ng’aleekaana? LWAKI oyagala aleekaane? Abasajja abamu...