TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eremesezza abayizi b'e Makerere okwekalakaasa

Poliisi eremesezza abayizi b'e Makerere okwekalakaasa

By Benjamin Ssebaggala

Added 17th April 2018

POLIISI yalinnye eggere mu kwekalakaasa kw’abayizi b’e Makerere n’ekwata abakulira Papa Were Salm n’emuggalira.

Tabu 703x422

Akulira abayizi e Makerere, Papa Were Salim ng'akuba omulanga wamu n'abaserikale oluvannyuma lwa ttiyaggaasi okusonsomola

POLIISI yalinnye eggere mu kwekalakaasa kw’abayizi b’e Makerere n’ekwata abakulira Papa Were Salm n’emuggalira.

Were, yabadde akunze banne beekalakaase olw’ensonga ez’enjawulo okuli; okuggyawo okusoma kw’olweggulo, obutabawa kyamisana n’eky’abasomesa okukabassanya abayizi.

Were agamba nti ekiseera kiyiseewo nga boogerezeganya n’abakulira yunivasite bazikoleko nga tebafaayo.

Amyuka Cansala wa Makerere, Polof. Barnabus Nawangwe yagaanyi abayizi okwekalakaasa n’ategeeza nti ensonga zisobola okugonjoolwa.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa omwogezi wa Makerere, Ritah Namisango kyategeezezza nti ensonga abayizi ze beemulugunyaako zikolwako era baakubasisinkana enkya ku Lwokusatu boogerezeganye.

Namisango yagambye nti tebaggyeewo kusomesa lwaggulo era baamaze okulanga okuwandiika abayizi abanaabeera mu nteekateeka eno mu lusoma lwa 2018/2019.

Wabula aduumira poliisi y’e Wandegeya, Joseph Nsabimaana yategeezezza Bukedde ku ssimu nti poliisi terina muyizi gwe yakutte mu byonna ebyabadde e Makerere, Martins Kato omwogezi w’abayizi ky’awakanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo