TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nambooze ali mu kkooti leero e Mbale ku bya Togikwatako

Nambooze ali mu kkooti leero e Mbale ku bya Togikwatako

By Musasi wa Bukedde

Added 17th April 2018

KKOOTI etaputa Ssemateeka ezzeemu okutuula e Mbale olwaleero okuwulira omusango gw’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’okwongezaayo ekisanja ky’ababaka ba Palamenti.

Aaaaaaabig703422 703x422

Omubaka Betty Nambooze

Kkooti etandise n’oludda oluwaabi oluliko looya, Erias Lukwago, Wandera Ogalo, Male Mabiriizi ne Ladislus Rwakafuzi nga basoya abakungu ba Gavumenti kajogijogi w’ebibuuzo olw’emivuyo egyakolebwa mu Palamenti ababaka bwe baali bateesa ku bbago ly’okukyusa Ssemateeka.

Mu basuubirwa okusooka okubuuzibwa ebibuuzo ye, muduumizi w’amagye Gen. David Muhoozi, abapoliisi okuli abadde aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano, Frank Mwesigwa n’akulira ebikwekweto ku poliisi Asuman Mugenyi nga bano bagenda kubuuzibwa ku bakuumaddembe abaayinbgira mu Palamenti ng’okuteesa kugenda mu maaso ne bakuba ababaka abaali batakkiriziganya na kya kuyisa tteeka.

Abalala kuliko; omuwandiisi w’eggwanika ly’eggwanga Keith Muhakanizi nga bagenda kumusaba annyonnyole ku ngeri obuwumbi 13 gye bwaweebwa ababaka beebuuze ku balonzi ku nsonga y’okukwata mu Ssemateeka, kiraaka wa palamenti Jane Kibirige, omubaka Moses Balyeku n’abalala.

Nambooze atandise okunnyonnyola engeri gye yakubwamu

Nambooze atandise okunnyonnyola balooya ba Gavumenti engeri gye yakubibwamu wamu n’abeebyokwerinda bagamba nti yabalaba nga bakuba ababaka.

Kkooti kati eyingidde wiiki eyookubiri ng’ewulira omusango gwa ‘Togikwatako’ abaawaaba emisango mwe basabira kkooti esazeemu eteeka ery’ekkomo ku myaka gya Pulezidenti gisigale 75 n’ababaka emyaka ebiri gye baayongeeza ku kisanja kyabwe eky’emyaka etaano gisazibwemu.

Omusango guno guwulirwa abalamuzi bataano okuli; amyuka Ssaabalamuzi Alfonse Owiny- Dollo, Remmy Kasule, Kenneth Kakuru, Cheborion Barishaki ne Elizabeth Musoke.

Wiiki ewedde abalamuzi bateeka looya wa Gavumenti Mwesigwa Rukutana ku nninga annyonnyole ababaka gye baggya obuyinza okweyongezza ekisanja n’omugaso gw’obukiiko bwa ‘Constitutional review’, obuteekebwamu ssente z’omuwi w’omusulo bwe kiba ng’omuntu akyasobola okuvaayo n’asaba Ssemateeka akwatibweko ne kikolebwa ng’obukiiko buno tebwebuuziddwako era ne kikolebwa mu bbanga entono.

Omulamuzi Kakuru era yamulagira abannyonnyole lwaki Gavumenti yakkiriza obuwumbi 13 okuggyibwa mu ggwanika lya Gavumenti olw’ebbago lya Magyezi ekintu ekikontana ne Ssemateeka bwe waba nga tewaaliwo kigendererwa kirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...