TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukyala wa Ssemuddu yetondedde bba oluvannyuma lw'okutegeeza nti yamukuba olw'okumumma akaboozi

Mukyala wa Ssemuddu yetondedde bba oluvannyuma lw'okutegeeza nti yamukuba olw'okumumma akaboozi

By Joseph Mutebi

Added 17th April 2018

Mukyala wa Ssemuddu yetondedde bba oluvannyuma lw'okutegeeza nti yamukuba olw'okumumma akaboozi

Fub1 703x422

Yahaya Ssemuddu ng'ali ne mukyala we mu maka gaabwe e Kitende

MUKYALA  wa Ambasadda  Sheikh Yahaya Ssemuddu  owa  Uganda mu ggwanga lya Saudi Arabia  eyamulumiriza okumukuba n'amutuusaako obuvvune bwe yamukuba omugongo amwetondedde olw’abamu ku b'enganda n’emikwano abaagala  okutta obufumbo bwabwe n’okufiiriza bba omulimu gw'aliko omutongole gw'aliko.

“Taata w’abaana nkwetondera nga kino nkigya ku ntobo y’omutima gwange nti ekituufu byonna byenayogera bwali busungu kubanga bulijjo mu bufumbo mubeeramu okusomoozebwa naye si byali birowoozo  byange okuggyako abantu abatakwagaliza kusigaala ku mulimu ogw’ekikungu gw’olimu ng’ate abamu banganda zaffe okunkozesa nkuswaze” Bwatyo mukyala mukulu Rukayyah Aburahaman Ssemuddu bwategeezezza.

Bino byonna bibaddewo mu maka gaba Ssemuddu e Kitende B, ku luguudo lw’e Ntebbe  abafumbo ababbiri bwe batudde mu nsonga zino omukyala n'ategeera ensobi ye neyetondera bba.

Bakira abaagalana bano ababadde mu mukwano buli omu ng’akuba munne amabenzi omukyala Rukayyah agambye nti bamaze mu bufumbo ne Ssemuddu kati emyaka gigenda kuwera 23 nga August/21/2018 babadde tebatuukangako mu mbeera eno ey’okweswaza wabula alina abantu be yali ayita mikwano gye n’abasembeza mu bulamu bwe era beebaviiriddeko embeera eno okwagala okubatabula bawukane nga n’omusajja bamugobye ku mulimu era kino yakitegedde buyise.

Omukyala ono yaduukira mu ddwaaliro y’e Nsambya ku Lwomukaaga ng’amaze okufuna obutategeragaana ne bba Ssemuddu ng’agamba nti yamukubye mizibu oluvannyuma lw’omuma akaboozi mu buliri.

 
Ye Ssemuddu agambye nti akimanyi abantu bangi balina fitina bwe bamulaba nga pulezidenti yamuwa ekifo nga kino wabula olw’okubeera nti wabaddewo embeera bweti ng’abantu abamu bamutiisatiisa abawe emitwalo gya ddoola 50,000. Oba sikyekyo bagenda kuyuzamu amakage n’omulimu kwekusonyiwa amangu maama w’abaana be.
 maka ga ba semuddu agasangibwa e itende Amaka ga ba Ssemuddu agasangibwa e Kitende

“Nze ndi musajja wa kitiibwa siyinza kukola kintu nga kino era omukyala musonyiye wabula mpa abakyala amagezi okulekeera ng’awo okukozesebwa abayaaye abaagala okutabangula amaka gabwe nga befudde mikwano gyabwe” bwatyo bwategeezezza.

 
Basuubiza okuyita n’abo abalowooza nti  obufumbo bwabwe babumaze okubwonoona nga August/21/2018 lwe bagenda okujaguza nga bawereza emyaka 23 mu bufumbo obutukuvu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda

Hot1 220x290

Minisita amazzi gatutabukidde

Minisita amazzi gatutabukidde

Lit1 220x290

Omukazi atulugunya abaana bange...

Omukazi atulugunya abaana bange

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali