TOP

Sejusa akkiriziddwa okuwummula amagye

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2018

ABOOLUGANDA bataamidde eyali amyuka Ssaabalamuzi Steven Kavuma ne batuuza olukiiko lw’ekika bamugobe mu nnyumba ya muganda waabwe wabula poliisi n’ebalemesa ng’egamba nti olukiiko terwabadde mu mateeka ate wandibaawo akagyagalalo.

Kkiriza1 703x422

Sejusa lwe yateebwa mu kkomera

BYA STUART YIGA

Kyaddaaki amagye gategeezezza nti Gen. David Sejusa, 63, agenda kuwummuzibwa mu butongole omwaka guno, mu July.

Omwogezi w’amagye, Brig. Gen. Richard Karemire, yategeezezza Bukedde nti,

“Kituufu Gen. Sejusa agenda kuwummuzibwa omwaka guno, wabula si yeyekka waliwo n’abalala bangi.”

“Waliwo enkola eyateekeddwawo nga kati buli genero ali mu magye, ajja kuba amanyi olunaku lw’anawummuzibwa okuva mu magye.” Karemire bwe yagambye.

Sejusa azze asaba okuva mu magye naye ng’abakwatibwako ku nsonga eno tebamuwa mwagaanya ekyamuviirako n’okwekubira enduulu mu kkooti enkulu.

Ensonda ziraga nti, nga tannaba kuwummuzibwa, Sejusa yali yaweebwa obukwakkulizo bwe yalina okutuukiriza olwo akakiiko k’amagye akakola ku by’okumuwummuza kalyoke kamuwe empapula mu butongole.

Kigambibwa nti mu bumu ku bukwakkulizo obwamuweebwa, mwalimu eky’obutaddamu kwogerera mu nkuhhaana za bya bufuzi ez’engeri yonna, oba okubaako ebigambo by’ayogera nga biyinza okutyoboola ekitiibwa ky’amagye, oba Pulezidenti ng’omuntu.

Ensonda ziraga nti, eno y’ensonga lwaki Sejusa abadde takyawulikika nnyo nga bwe yali, era nga kati abantu abamu babadde batuuse n’okumwebuuza gye yalaga. Kigambibwa nti omuduumizi w’amagye ow’oku ntikko, Gen. Yoweri Museveni yali yalagira dda Sejusa okuwummuzibwa oluvannyuma lw’okumusisinkana mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe, mu January, 2015, kyokka akakiiko akakwatibwako ensonga eno, mu magye aka, ‘Army Commissions and Promotions Board’, kabadde tekateekanga mu nkola kiragiro kino, olw’ensonga nti, kabadde kakyalinze kalabe oba ddala Sejusa agoberera obukwakkulizo obwali bwamuweebwa.

Ensisinkano eno kigambibwa nti yalimu bannamateeka ba Sejusa okwali David Mushabe ne Michael Mabikke, era nga mu balala kwaliko; Gen. Elly Tumwine, Brig. Ramathan Kyamulesire n’abalala.

SEJUSA ADDUKIRA E BUNGEREZA

Sejusa nga May, 2013, yaddukira e Bungereza oluvannyuma lw’okuwandiika ebbaluwa, eyali esaba wabeewo okunoonyereza ku lukwe olwali lulukiddwa okutta abaali bawakanya ekya Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba, okuyingira ebyobufuzi y’esimbewo ku bwapulezidenti.

Mu December, 2014, Gen. Sejusa yakomawo okuva e Bungereza gye yali amaze omwaka mulamba n’okusoba. Ng’akomyewo, yattukiza buto eky’okubanja amagye gamukkirize awummule nga yeekwasa nti, yali yabawandiikira mu April, 8, 2015, ng’abategeeza mu butongole nti yali takyali mu magye kyokka ne bamulemesa.

SEJUSA ASIBWA

Mu January 2016, ng’ebula wiiki nga ssatu okulonda kubeewo, amagye geebulungulula amaka ga Sejusa, agasangibwa e Naguru ne gaaza enju ye, oluvannyuma n’akwatibwa n’atwalibwa mu kkomera e Makindye.

Oluvannyuma Sejusa yasimbibwa mu kkooti y’amagye eyakulirwa omugenzi Maj. Gen. Levi Karuhanga, n’asomerwa emisango okwali ogw’okwebulankanya ku mulimu nga tafunye lukusa, n’okwenyigira mu by’obufuzi, ekikontana n’amateeka agafuga amagye.

Ng’ayita mu bannamateeka be okwali; Yusuf Nsibambi, Erias Lukwago, Denis Nyombi, Ladislaus Rwakafuuzi, David Mushabe, Yunus Kasiriivu, ne Michael Mabikke, Sejusa yawakanya ekya kkooti y’amagye okumuwozesa ate ng’omusango gwe, gwe yali yawaaba mu kkooti enkulu ng’awakanya eky’obutawummuzibwa mu magye gwali tegunnawulirwa.

Sejusa mu mpaaba ye, yalaga nti, yali yaggyibwaako emmundu, ebyambalo, nga takyafuna musaala n’ensako. Bino byonna bye yeesigamako okusaba kkooti erage nti yali takyali mu magye.

Sejusa yasindikibwa mu kkomera e Luzira, nga February,02, 2016, oluvannyuma n’akomezebwaawo nga February, 09, 2016, n’asaba okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti kyokka tekyasoboka, n’addizibwaayo e Luzira gye yabeera okutuusa nga February, 23, 2016.

Oluvannyuma yateebwa ku kakalu ka kkooti nga April, 01, 2016, nga n’okulonda Pulezidenti kwaggwa dda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...