TOP

Eyafiiridde mu nju abadde afumba mu malya 2

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2018

ABAAGALANA abaafiiridde mu nnyumba e Namulanda mu kiro ekyakeesezza Mmande baabadde beteekateeka kweyanjula mu September w’omwaka guno.

United1 703x422

Namutebi ne Kazibwe lwe yakyala. Mu katono, Kimera

Lydia Namutebi abadde maneja wa Kings Sports Betting mu Ndeeba ne John Kazibwe abadde makanika ewa Kisekka mu Kampala baafudde oluvannyuma lw’ekikomera ekiriraanye ennyumba yaabwe okuyiika ne kigwira ekisenga mwe babadde basula.

Bano we baafiiridde baabadde baakamala okukyalako mu bakadde nga February 15, omwaka guno.

Emikolo gino gyali mu maka ga bazadde ba Namutebi, Godfrey Ssenfuma ne Scovia Nakalema e Nkokonjeru mu Kyengera Town Council ng’okwanjula kubadde kwa kubeerawo mu September w’omwaka guno.

Aisha Nakabuye owooluganda lwa Namutebi eyasangiddwa mu maka gano yategeezezza nti Namutebi abadde yanoba ewa bba Kimera gw’alinamu abaana omwaka oguwedde era ng’abadde yafuna omusajja omulala.

OMULANGIRA KIMERA EYASOOKAOKU WASA NAMUTEBI ATAANGAZIZZA

Emmanuel Kimera Kiwanuka, omuzimbi omutuuze w’e Kinaawa mu Kyengera Town Council eyasangiddwa mu maka ge we yakumye olumbe okukungubagira abadde maama w’abaana be yategeezezza nti amawulire ga mukyala we okufa gaamusanze yeeteekateeka kugenda ku mulimu.

Bwe yabikidde baganda be baamwegasseeko mangu okugenda e Nkokonjeru gye bazaala Namutebi okumanya ebisingawo n’okukola enteekateeka z’okuziika.

Agamba nti ebigambo bye yasanze biyitihhana ku gw’abadde ayita mukyala we byamumazeemu amaanyi kubanga abadde tamanyang’ako nti alinayo omusajja omulala.

‘’Bukya twawukana kati emyezi munana kyokka nga tubadde tuwuliziganya era nga twogerezeganya bulungi nga n’olumu ajja n’ankyalirako era nga kimanyi nti ava Nkokonjeru mu bakadde be nga bulijjo bw’angamba,’’ Kimera bwe yategeezezza

AZAALA NAMUTEBI YANKOZESA ENDAGAANO OKUMPA MUWALA WE

Nayagala Namutebi ng’ali mu siniya yamukaaga ebyembi n’emufunyisa olubuto n’atasobola kukola bigezo byakamalirizo era ssezaala wange olwakimanya nampita n’ankozesa ekakalu.

‘’Mu ndagaano eno nalina okuweerera Namutebi n’okum-ulabirira okutuusa ng’amaze okusoma kye nakola era oluvannyuma twakola emikolo gy’okumala amawemukirano ewa Jjajja e Kazo ne bamukwasa mu butongole ne tutandika okubeera ffenna ne tuzaala n’abaana babiri,’’ Kimera bwe yategeezezza

Yayongeddeko nti yasembeyo okwogera ne Namutebi ku Ssande ekiro ng’amusaba fiizi z’abaana era olwafunye ssente ne nzimuwereza 55,000/- ku ssaawa 3:30 ez’ekiro oluvannyuma nakubye ku ssimu kyokka nga teriiko ne sikitwala ng’ekikulu.

Omulangira Steven Nambaale mukulu wa Kimera yategeezezza nti bwe baagenze mu e Nkokonjeru mu bakadde ababazaalira omukyala, baabadde baagala kusaba babakkirize omugenzi aleetebwe mu maka ge we baba bakumira olumbe kyokka kyababuuseeko bwe bafunye amawulire nti yafiiridde mu nnyumba ya musajja abadde agenda okumwanjula.

Yayongeddeko nti omwaka oguwedde nga tebannayawukana ne Kimera bamutegeezako nga bwe balina enteekateeza z’okwanjula mu March w’omwaka guno kyokka kyali tekinabeerawo ate Namutebi n’anoba oluvannyuma lwa Kimera okwavuwala.

Namutebi yazikiiddwa ku Lwokubiri e Myazi ku lwe Mityana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...

Son 220x290

Taata na yasooka kunkolako byawongo...

OKUSOBYA ku bawala ng’ate ababasobyako bahhanda zaabwe mu maka mwe babeera kikyali kizibu kinene ekyetaaga okunogera...