TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayimbi balonze Capt. Mike Mukula okubeera omuyima w'ekibiina kyabwe ekya Uganda Musicians Association

Abayimbi balonze Capt. Mike Mukula okubeera omuyima w'ekibiina kyabwe ekya Uganda Musicians Association

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2018

Abayimbi balonze Capt. Mike Mukula okubeera omuyima w'ekibiina kyabwe ekya Uganda Musicians Association

Rep1 703x422

Julius Kyazze ku kkono nga ssntebe y'ekibiina ate ku ddyo ye Capt. Mike Mukula alondeddwa ku buyima bw'ekibiina

Bannakatemba n'abayimbi abeegattira mu kibiina kya Uganda Musicians Association balonze ssentebe wa NRM mu buvanjuba bwa Uganda Capt. Mike Mukula okubeera nnampala waabwe nga tavuganyiziddwa.

 Magie Kigozi ng'ayogerako eri bammemba b'ekibiina

Capt. Mukula yaliko minisita omubeezi owa minisitule y’ebyobulamu era eyakulira ekibiina kya Arrow Boys mu kulwanyisa bakyewaggula ba Joseph Kony ne Alice Lakwena

Wiinie Nwagi ne Vinka nabo babaddewo nnyo

Baabadde ku woteeri ya Silver Springs e Bugoloobi era eno Cap. Mukula gy'abaweeredde  ensimbi obukadde butaano (5,000,000/=) zibayambeko mu kwekulaakulanya.

Ssentebe w'ekibiina kino kino Julius Kyazze y'akulidde okusonda ssente okuva mu bammemba ne baweza obukadde 14 ng’abakakiiko akafuzi baasonzeeko buna.

Kyazze ategeezezza nti ezimu ku nsimbi ze baasonze zaakubafunira wofiisi ey’omulembe eneebaweesa ekitiibwa era nga yabalaze n’akabonero k’ekibiina ke yatandise okukyusa mu kaweefube w’okwezza obuggya.

Abamu ku bayimbi abeetabye mu nteekateeka eno kwe kuli Eddy Kenzo, Haruna Mubiru, DJ Kikofiira, Ykee Benda, Navio Kigozi, Mesach Semakula, Ronald Mayanja, Apas omutegesi w’ebivvulu Isaac Rucci n’abalala.

Eyaliko dayirekita wa Uganda Investment Authority, Prof. Maggie Kigozi naye yabaddewo nnyo n'akubiriza abayimbi okwettanira ekibiina kino okwekulaakulanya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Han1 220x290

Minisita w'ebyemizannyo omuggya...

Minisita w'ebyemizannyo omuggya Hanson Denis Obua asiimye omulimu ogukoleddwa Omugagga Ham ogw'okuzimba ekisaawe...

Bbomu3 220x290

Omuyeekera aweddeyo eby'okulwanyisa...

AGAMBIBWA okubeera omuyekera w’akabinja ka M23 eyayingira mu ggwanga nga yefudde abundabunda ne yewaayo mu mikono...

Poliisi yeezoobye n'aba Bodaboda...

POLIISI ekubye omukka ogubalagala mu bavuzi ba bodaboda mu Kampala okubagumbulula bwe babadde bagezaako okulaga...

Yasanze malaalo ng’atutte ebya...

EYASIBA sumbuusa nga tayogera na mwagalwa we baakamutemye atutte kimuli kya Valentine nti oli yafa dda!

Chrisevans 220x290

Chris Evans agaanyi okuddamu okuyimba...

NGA Chris Evans tannasimbula kugenda Masaka mu kivvulu kya Rema Namakula ekyabadde ku Maria Flo, maneja wa Rema,...