TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kirumira alangiridde okuvuganya MinisitaKyambadde ku bubaka zaabike emipiira

Kirumira alangiridde okuvuganya MinisitaKyambadde ku bubaka zaabike emipiira

By Ponsiano Nsimbi

Added 21st April 2018

MOHAMMAD Kirumira olwamusalidde ekibonerezo ky’okumuggyako amayinja abiri, n’alangirira nti asazeewo kuyingira mu byobufuzi avuganye minisita Amelia Kyambadde ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti mu Mawokota North.

Panta 703x422

Minista Amelia Kyambadde ne Kirumira Muhammad

‘Abataka b’e Mawokota bansabye nneesimbewo era nange sijja kubatenguwa nsazeewo mbaweereze mu palamenti’, Kurumira bwe yategeezezza.

Yagambye nti akimanyi nti minisita Kyambadde muntu wa nsimbi era ye nga Kurumira tayinza kumwenkana mu byansimbi naye ebinaddirira byakusalwawo balonzi mu kalulu.

Yagambye nti tajja kukubisa bipande kuba ye ye kipande naye ne bwe kinaaba kyetaagisa kalulu kukanoonyeza ku kagaali ajja kukisobola.

Yeegeraageranyizza ku bantu be byafaayo mu Bayibuli nga Daudi eyatta Goliyaasi, nti baali bamunyooma naye yatta omusajja nnaggwano n’ayogera ku Yesu nti yazaalibwa mu kiraaro kya nte naye yajja n’obubaka n’afuna abagoberezi abatamanyiddwa bungi na buli kati.

Yayogedde ku by’ensimbi n’agamba nti abantu abaagala byakola bajja kuzimuwa entonotono n’awa ekyokulabirako nti mikwano gye abali ebweru w’eggwanga baamuweerezza dda obubaka nga bamuwagira nti ekiseera bwe kinaatuuka, bajja kumukwatizaako ku byensimbi.

Kirumira agamba nti ng’oggyeeko okukiikirira ekitundu kya Mawokota North, ayagala kugenda mu palamenti alwanirire embeera y’abaserikale ba poliisi omuli ensasula embi, okusula obubi, obusosoze n’ebirala ebibanyigiriza.

Yagambye nti ayagala kusisinkana pulezidenti Museveni amusabe amuyambeko okumwanguyiza okuwummula emirimu gya poliisi ate awummule n’amayinja ge agaamuggyiddwaako era yeeyambise omukisa guno okumutegeeza kawukuumi akyali mu poliisi.

Yayogedde ku bukulembeze obupya mu poliisi n’agamba nti butambula bulungi nti kyokka bukyalina omulimu munene okutereeza ekitongole kino kuba kikyalimu abantu abakyamu bangi abeetaga okugobamu.

Kirumira kkooti ya poliisi gwe yawadde ekibonererezo ky’okuggyibwako amayinja abiri oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango eno, agaanyi okukkiriza ekibonerezo n’ategeeza nti ajja kujulira.

Emisango egyamusinze kuli; okulaga abasibe okuli n’owa poliisi eri ab’amawulire, okukozesa obubi obuyinza bwe n’agoba abatuuze ku kyalo, okulagajjalira omulimu gwe ekyavaako abasibe okutoloka, n’okulya enguzi.

Wabula yaggyiddwaako emisango ena okuli; okubba capati, ogw’okuggya enguzi ku Hassan Kayongo, okukwata Kefa Awongi n’amuggyako enguzi ya 41,000/-, okulya enguzi ku George Kalera ya 1,300,000/, n’okuggya enguzi ku Robert Kaleeefu.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola yategeezezza ababaka ba palamenti nti enneeyisa ya Kirumira yeetaaga kukolwako nnyo kuba bamubuuliridde emirundi egiwera naye agaanyi okukyusaako.

Yagambye nti kyabadde kituufu Kirumira okumuwozesa nga tewali b’amawulire kuba buli lw’alaba kamera yeefuula bbereeje kyokka n’avumirira ekikolwa ky’okukuba bannamawulire abaabadde ku mulimu gwabwe era n’asuubiza nti ajja kukinoonyerezaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

Pulezidenti Museveni alambudde...

Pulezidenti Museveni alambudde oluguudo lwa Soroti - Moroto

Deb2 220x290

Omwana eyabuziddwawo asattizza...

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

Got2 220x290

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa...

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Mim1 220x290

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde...

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

Pop1 220x290

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu...

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu