TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Galiwango ow'ebijambiya bamututte mu kkomera e Luzira

Galiwango ow'ebijambiya bamututte mu kkomera e Luzira

By John Bosco Mulyowa

Added 21st April 2018

MUSA Galiwango poliisi gwe yakubidde amasasi e Ntungamo ng’agambibwa okwenyigira mu bubbi bw’ebijambiya akuumirwa obutiribiri mu kkomera e Luzira ng’ayolekedde okuggulwako emisango egiyinza okumutwazisa mu kkooti y’amagye.

Gango 703x422

Gakliwango

Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera, Frank Baine yategeezezza nti, Galiwango akuumirwa mu kkomera e Luzira ng’ali mu ddwaaliro ly’ekkomera ajjanjabibwa olw’ebiwundu by’amasasi bye yafuna.

Galiwango yatoloka mu kkooti e Masaka ne Muhammad Kiddawalime. Kiddawalime ye yasooka okukwatibwa ne bamukuba amasasi agaamutta e Kalungu.

Baine yagambye nti bw’anaawona ayinza okuwerennemba n’emisango egikunukkiriza mu 20 nga kuliko egy’obutemu, obubbi, okugezaako okutemula, okutoloka mu kkomera, okubeera n’ekissi n’emirala.

Musa Galiwango yatoloka ne munne Kiddawalime mu kkooti. Baddamu okutigomya abantu era Kidawalime yattibwa e Mukoko - Kalungu ewa Reste Nakyambadde eyatemya ku balirwaanwa ne bakubira poliisi n’ebazingiza ye (Galiwango ) n’adduka.

Nakyambadde omusawo mu ddwaaliro ly’e Bukulula, Pulezidenti Museveni yamusisinkanye n’amukulisa okukolebwako ebikolobero.

CRIME PREVENTER EYALI NE POLIISI ABANJA

Ebyo nga biri bityo, Mike Kyakuwa ‘Crime Preventer’, eyali ne poliisi nga bakwata Kiddawalime agamba nti, yayamba owa poliisi Twinomugisha,okunyweza Kiddawalime, akiise ensingo olwa banne bwe baali ne basiimibwa kyokka ye n’alekebwa ebbali.

N’agamba nti akyanyiga ebisago bye yafuna ng’alwanagana ne Kiddawalime nga akola kinene okulaba nga bamufunza kyokka bvwe baatuuse okusiima tewali yamulowoozezzaako.

Kyakuwa agamba nti wadde y’omu ku baagabana ku bukadde e 10 ezaabaweebwa ekitongole ky’amakomera, nti naye era zaggwaawo kubanga yafuna 1,660,000/- n’awaako banne abamuyamba okulwanyisa obumenyi bw’amateeka ku kyalo.

Era ssente ze zimu zaakozesa okwejjanjaba ate ng’asula mu loogi olw’okutya abeebijambiya okumulumba mu ngeri y’okwesasuzza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.