TOP

Omuwala agambibwa okwewamba poliisi emukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 21st April 2018

OMUWALA abadde asattiza abazadde azuuliddwa wabula abeebyokwerinda ne bamusigaza nga bateebereza nti yeekobaanye ne mwannyina ne bapanga olukwe lw’okwewamba n’ekigendererwa eky’okukanda abazadde ensimbi.

Yigga 703x422

Amaka ga Haji Sulaiman Mutyaba (mu katono ku ddyo). Mu katono ku kkono ye Nassirye agambibwa okwewamba

Akasattiro kamaze kumpi wiiki nnamba mu maka ga Haji Sulaiman Mutyaba, omutuuze wa Kireka B Zooni mu Kireka oluvannyuma lwa muwala we Sarah Nassirye 30, okubulawo mu ngeri etategeerekeka ate oluvannyuma Hajji n’afuna amasimu agamutiisatiisa.

Buli luvannyuma lwa ddakiika 20, babadde bamukubira essimu. Ekya ssente babadde tebakiggyaayo butereevu, wabula ebigambo bye bamugamba bimutadde ku bunkenke.

“Ssebo, muwala wo ffe tumulina, totegeeza poliisi wadde omuntu yenna, ne baliraanwa tobagamba, essimu yo ebeereko ate ekubeere kumpi. Mu bbanga ttono tugenda kukutegeeza ekiddako!”

Essimu eyasinze okumutiisa yabaddemu ebigambo ebyo, oluvannyuma essimu ne bagiggyako. Bazzeemu ne bakuba ne bamugamba nti; “Kati teekateeka w’ogenda okumuteeka nga tewali muntu yenna asobola kumutuukako kumulaba ne bwe baba baliraanwa.”

Nassirye, ye maneja w’ekifo ekyolezebwamu mmotoka e Kabalagala MUSTA Jet Car Wash, ng’eno era alinayo n’edduuka eritunda engoye.

Mukulu wa Nassirye ayitibwa Hawa Mutyaba ng’ono bwe basula mu nju yasoose kutegeeza bazadde nti: Zaabadde ssaawa nga nnya ez’ekiro ky’Olwokubiri (17/04/18), Nassirye n’ankubira essimu nga yenna awulikika nti atidde nnyo n’ang’amba nti “Hawa abasajja babiri baabano bangoberera mu kakubo, naatera okutuuka awaka munnyambe, munnyambe.”

Ebyo bye bigambo bye nakomye okuwulira, essimu nagisudde eri ne ntegeeza bannange bwe twabadde awaka ne tudduka tulabe oba tumusanga, kubanga awaka waffe kumpi n’ekkubo.

Akakubo k’atera okukozesa bulijjo okuyitamu ng’adda eka gye twaddukidde, wabula tetwamusanze kwe kugenda mu kakubo akookubiri nga bwe tuyita abatuuze abaatwegasseeko, naye kano tatera kukakozesa kubanga kabeeramu enzikiza.

Nayo yabadde talabikako, wabula mu kunoonya ennyo, twasanze akagatto ke ak’ekigere ekimu nga kali wabbali w’ekkubo ne tutegeera nti osanga mu kulwanagana n’abazigu we kamuviiriddemu ne kagwa. Twakung’aanye ne tutandika omuyiggo, wabula ne tubulwa.

Kyatwewuunyisizza kubanga tuliraanye akatale, ezo essaawa abantu baba bakyatambula ate tuli kumpi n’ekkubo! Wabula waliwo omusajja omu eyategeezezza nti y’alabye abasajja babiri nga bateeka omuwala mu mmotoka, naye ng’alinga awalira kyokka ne bamutwala ku mpaka nga balaga ng’abaabadde bali naye obwedda.

Emmotoka nti yabadde njeru, wabula ono eyalabye yagambye nti yalabye emmotoka yeefanaanyiriza ekika kya WISH ne Kibina. Baasoose kuggulawo musango ku poliisi e Kireka oguli ku fayiro SD: 02/18/04/2018 ogw’okuwamba omuntu waabwe.

Diana Mukisa omu ku bakola ne Nassirye mu kifo awoolezebwa mmotoka e Kabalagala agamba nti, Nassirye yavudde ku mulimu essaawa nga zigenda mu ssatu ez’ekiro n’alinnya takisi okudda awaka, nabo bazzeemu kuwulira ssimu nga babategeeza nti yawambiddwa, naye tebamanyi kuba musirise nga tayogerayogera na bantu okuggyako ffe bakozi banne.

Haji Mutyaba oluvannyuma yafunye essanyu, abaserikale bwe baaleese muwala we awaka ku ssaawa nga 9:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokuna n’amulabako.

Mutyaba yagambye nti muwala we yabadde akankana nnyo nga n’engoye z’alimu ziddugala nnyo era abaserikale ne bagamba abazadde bawe omuwala amazzi anaabeko bamuwe n’ebyokunywa kubanga enjala yabadde emuluma.

“Wabula baatugaanyi okwogera naye ku byabaddewo nga bagamba nti bakyalina bye babuuliriza. Bwe yamaze okwambala n’okufuna caayi, abaserikale abaamuleese ne bamuzzaayo” Haji Mutyaba bwe yagambye. Kigambibwa nti mu kunoonyereza kw’abaserikale bateebereza nti Nassirye yabadde yeewambye afune ssente okuva mu kitaawe.

Kiteeberezebwa nti omupango gwabaddemu mwannyina omu akyanoonyerezebwako.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Okoth Ochola bwe yabadde mu Palamenti yayogedde ku muwala gwe baabadde baakazuula kyokka ng’okunoonyereza kulaga nti yabadde yeewambye afune ssente mu bazadde.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti omuwala Ochola gwe yabadde ayogerako ye Nassirye.

Ab’ekitongole kya Flying Squad nga bakolera wamu ne JATT be baalondodde Nassirye nga bakozesa emirongooti gy’essimu egyabadde giraga nti atambulira mu Naalya, Gayaaza, Mukono ne Sseezibwa okumpi ne Kayunga.

Mutyaba yagambye nti kati mugumu wadde nga muwala we akyali mu mikono gya poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...