TOP

Omujjuzo ng’abantu bazzaako essimu

By Lawrence Kitatta

Added 21st April 2018

ABANTU bakyagenda mu maaso n’okweyiwa ku maduuka agatunda layini z’essimu okusobola okuzzaawo ennamba zaabwe ezaababbibwako.

Kuba 703x422

Bano baabadde ku Shoprite mu Kampala wakati nga baagala kuzzaako ssimu zaabwe.

Ebifo okuli Shoprite Lugogo, Kampala Road, Shoprite mu Kampala, Ntinda, Bukoto, Bugoloobi n’ebifo ebirala byonna bikwatiridde abantu ab’enjawulo abaagala okuzzaako amasimu gaabwe oluvannyuma lw’okumala ebbanga erigenda mu myezi ebiri nga Gavumenti eyimirizza okuzzaako nnamba y’essimu ebuze.

Kyokka Gavumenti bwe yalangiridde nga bw’eggyeeyo ekiragiro kye yali yassa ku kkampuni z’essimu ng’eyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku byempuliziganya ekya Uganda Communications Commission (UCC) abantu bakeera kweyiwa mu bino bino bazzeeko amasimu gaabwe.

Abantu bangi ababbiddwaako essimu babadde bali mu maziga kubanga buli kintu kye babadde bakolera ku ssimu kibadde kiyimiridde. Okukuba essimu omuntu kibadde kimwetaagisa kweyazika oba okubyesonyiwa.

Kati okuzzaako essimu olina okugenda ne densite y’eggwanga, ebbaluwa ya poliisi ekakasa nti waloopa okubula kw’essimu, nga tesukka mu mwezi n’obusente obutono obutasukka 3,000/-.

Kyokka abantu abamu baateganidde busa oluvannyuma lw’okusimba ennyiriri kyokka ng’ebbaluwa za poliisi ze balina nkadde nnyo ne bazibagobya.

Joan Nanteza omutuuze w’e Komamboga y’omu ku bafunye ekizibu kino.

Ate Faith Bugozi omwogezi wa kkampuni ya Airtel Uganda agambye nti, ebifo we baddizaako essimu birambikiddwa bulungi okuli Lugogo Forest Mall, Kampala Road ku kitebe kya Airtel, Bugoloobi, Bukoto ng’ebifo bikyali bitono kubanga obuuma obwaweereddwaayo butono ddala.

Ibrahim Bbosa omukwanaganya wa UCC n’abantu akakasizza nti buli eyabulwako ‘siimu kaadi’ egenda kuzzibwako singa ekyuma bwe kisoma ebikukwatako nga by’ebyo byennyini ebikwatagana n’essimu.

Kyokka singa kisangibwa nga tebikwatagana oba togenda kugifuna.

Yagambye nti obuuma buno baakafunako butono nga buli kkampuni ya ssimu yaweereddwa obuuma 10 okutandika naye nga basuubira okwongera ku bungi bw’obuuma buno kuba obwetaavu bungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.