TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bryan White ne Sipapa bongedde okuvuganya kw'ani asinga ekyuma: Jack Pemba abiyingiddemu

Bryan White ne Sipapa bongedde okuvuganya kw'ani asinga ekyuma: Jack Pemba abiyingiddemu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2018

ABAVUBUKA bavudde mu kukasuka ssente kati bazze mu mpaka z’ani asinga okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi Embiranye wakati wa Bryan White ne Sipapa (Charles Olim) mu kulaga ssente tennaggwa.

Yoga1 703x422

Bryan White oluguze Range Rover ne Sipapa naye n’agituusa n’agattako okumusoomoza bwagambye nti “Bryan bw’aba ng’akakasa ssente azirina, njagala agule nga nange bwe ngula...” Bryan ye yasoose okugula mmotoka kika kya Range Rover Sport Autobiography mu langi eya bbululu eri ku nnamba ya UBB gye yagasse ku Tundra gy’abadde avuga.

Waayise ennaku mbale Sipapa naye amanyiddwa okukyusa mmotoka n’atuusa mmotoka kika kye kimu mu langi enzirugavu eri ku nnamba UBD 069E era buli omu ku bano obwedda awaana yiye nti y’esinga.

Bryan amawulire ga Sipapa okugula Range Rover olwamugudde mu matu kwe kukyusa kati yafunye Mercedes-Benz G-Class gy’avuga ng’awerekerwako oluseregedde lwa mmotoka ze endala okuli ne Jeep.

Embiranye eno n’abawagizi bagiyingiddemu buli ludda luwaga nti omuntu waabwe y’asinga kyokka Bryan agamba ye tali mu byakuvuganya na muntu era okugula mmotoka ez’ebbeeyi akikoze kukakasa abaludde nga bamwogerera nti avuga mmotoka za layisi.

Embiranye y’ababiri bano yasooka kweyoleka ku kivvulu kya Paasika (Easter Monday) e Nabugabo, Sipapa eyali atambudde n’ekimotoka kya ssente bwe yabaza Bryan ng’ali ku siteegi ayogera eri abantu n’atandika okukasuka ssente mu bbanga ekyavvuddeko abantu okucankalana ne kinyiiza Bryan n’amulangira okuyisa amaaso mu bantu n’abakasukira ssente ng’embwa.

Kyokka Sipapa n’amwanukula nti ekimwogeza ebyo butabeera na ssente za kugabira bantu kuba bulijjo azikasuka.

 ipapa ku kyuma kye yaguze Sipapa ku kyuma kye yaguze

Bryan amanyiddwa okugabira abantu ssente, kw’olwo teyagaba olwo abawagizi ba Sipapa ne balangirira omuntu waabwe nti awangudde.

JACK PEMBA ABIYINGIDDEMU

Abasinga amaaso babadde bagatadde ku Bryan White ne Sipapa ate ne Jack Pemba bwe bateematira ne Bryan eyamugoba mu bbaala naye n’ayingirawo.

Pemba abadde asiriikiridde nga n’abamu bagamba yaggwamu, akomyewo n’amaanyi bw’aguze mmotoka kika kya Lexus Sport Plus 2018 gy’agamba nti temanyi ya Bryan ne Sipapa.

Yeekutte eddoboozi lye yatadde ku mukutu gwe ogwa Facebook ng’awaana ‘ekyuma’ kye nti “obukadde 620 mu za Uganda nzikozesa bulungi era ekyuma kikyo mukiraba”.

Mu balala abali mu lwokaano ye muvubuka, Don Nasser. Musaayi muto ono ayogeza Bannakampala obwama nga beebuuza gy’aggya ssente.

Alina emmotoka eziwerako okuli, Range Rover Vogue ne Mercedes Benz GLE.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...