TOP

Minisita atumizza omwana akeberwe ne Walukagga

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2018

MINISITA avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi asindise abaserikale ba Flying Squad e Mubende baleete omwana nnyina gw’alumiriza nti yamuzaala mu muyimbi Mathias Walukagga kyokka ng’amwegaana.

Kagga 703x422

Namugerwa n’omwana gw’agamba nti, wa Walukagga.

Nakiwala Kiyingi yategeezezza nti, ekyamusindisizza abaserikale yamaze kufuna mawulire nga bwe waliwo olukwe olwakoleddwa okuwamba omuwala ono n’omwana we bababuzeewo.

Minisita Nakiwala Kiyingi yalagidde baserikale bano bagende e Mubende baggyeyo omwana ne nnyina babaleete e Kampala era nga kyasaliddwaawo omwana akuumirwe mu kifo omulabirirwa abaana eky’e Naggulu asooke afune obujjanjabi olw’embeera embi gy’alimu oluvannyuma bamutwale aggyibweko omusaayi.

Wabula Walukagga yeemulugunyirizza minisita Nakiwala olw’amaanyi g’atadde mu nsonga eno ng’ate abaana ba Uganda baalaba bangi ababonaabona kyokka nga tebafiiriddwaako.

Kyokko minisita yamwanukudde nti ensonga za Walukagga yazisoma mu mawulire kye yava asitukiramu okuyamba omwana ono.

Minisita Nakiwala agamba nti ky’ayagala kukakasa nti, omwana ono afuna kitaawe omutuufu era alabirirwe.

Yagambye nti okumalawo bino byonna kukebera Walukagga na mwana ono bakakase ekituufu.

Kyokka yeeyamye nti singa ebinaava mu musaayi biraga nti, omwana si wa Walukagga, amaanyi gamutaddeko ge gamu g’ajja okussa ku muwala ono olw’okumwonoonera erinnya. Yakiggumizza nti, talina lutalo lwonna na Walugagga kuba muntu alina bw’ayamba eggwanga tayinza kuba na kigendererwa kya kumusanyaawo.

Bino byonna biddiridde omuwala Aisha Namugerwa eyali akola obwahawusigaalo ewa Walukagga okuvaayo n’amulumiriza nti yamuzaalamu omwana n’agaana okumulabirira.

Walukagga agamba nti, omuwala ono tamwagalangako era ye akimanyi ono yali ayagalana n’omu ku bazinyi be ayitibwa Twaha Mawanda.

Ye Mawanda akkiriza nti yayagalako ku muwala ono nti kyokka bw’abala ebiseera mwe yazaalira, omwana si wuwe.

Omuwala alumiriza Walukagga nti bwe yali yaakazaala yamukubira essimu n’amutegeeza nti azadde era Walukagga n’amulagira akube omwana ekifaananyi akimuweereze.

Omuwala agamba nti ekifaananyi yakiweereza kyokka Walukagga bwe yakirabako, n’ategeeza nti, omwana yalina omutwe munene nnyo ate ng’ewaabwe tebazaala baana ba mitwe minene era okuva olwo Walukagga n’abeesalirako ddala n’okutuusa kati ng’omwana aweza omwaka gumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.