TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni asisinkanye Omulangira William mu CHOGM

Museveni asisinkanye Omulangira William mu CHOGM

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2018

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abakulembeze b’amawanga agatali gamu ne bakubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okutumbula enkolagana ya Uganda nago.

Sina 703x422

Omulangira William owa Bungereza ng’ayaniriza Museveni.

Yasisinkanye n’Omulangira William (Duke of Cambridge) mu Bungereza ne bateesa ku nsonga eziwerako.

Yabasisinkanye mu lukuhhaana lw’amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza olumanyiddwa nga CHOGM oluyindira e Bungereza.

Uganda yatuuzaako ku lukuhhaana luno olwetabwamu ne Kwiini wa Bungereza mu 2006.

Museveni yasisinkanye ne minisita w’ensonga z’ebweru owa Bungereza, Boris Johnson ne bateesa ku kunyweza enkolagana n’eggwanga eryo era ne bakkaanya okukolera awamu okumalawo ebizibu mu Uganda n’amawanga ag’omuliraano.

Pulezidenti era yasisinkanye Katikkiro wa Buyindi, Narendra Modi naye ne bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezitali zimu.

Yabadde era asuubirwa n’okusisinkana ne Pulezidenti w’e Kenya, Uhuru Kenyatta, okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa amaka g’obwa Pulezidenti mu Uganda.

Ng’olukuhhaana olwo lugenda mu maaso, omubaka mu Palamenti ya Bungereza, Paul Williams akiikirira Stockton South (mu House of Commons) yagambye nti CHOGM yandikozesezza eddoboozi lyayo okuwaliriza abakulembeze abaludde mu buyinza nga Pulezidenti Museveni okuwummula, wabula Palamenti yabisambiridde.

Omuwandiisi wa Pulezidenti ow’ebyamawulire Don Wanyama naye yayanukudde omubaka ono gwe yawadde amagezi awe ekitiibwa abakulembeze b’amawanga kubanga balondebwa bantu n’amujjukiza nti Bannayuganda bamanyi omukulembeze gwe baagala noolwekyo asse ekitiibwa mu kusalawo kwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke