TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Envunza zizzeemu okubonyabonya abayizi e Kayunga

Envunza zizzeemu okubonyabonya abayizi e Kayunga

By Saul Wokulira

Added 23rd April 2018

ENVUNZA zizzeemu okubonyabonya abaana mu masomero e Kayunga, ziremesezza abamu okugenda ku masomero ekintu ekigootaanyizza eby'enjigiriza mu kutunda kino.

Envunza 703x422

Abaana nga balaga ebigere ebirumiddwa envunza

Abasomesa bagamba nti abaana envunza bazifunira ku ssomero olw'enfuufu eyitiridde mu bibiina mwe basomera nga n'ebizimbe bikutte mu mbinabina.

Omukulu w'essomero lya Bulawula C/U Primary school mu ggombolola y'e Kitimbwa mu disitulikiti y'e Kayunga Esther Namulinde bino y'abitegeezezza abakulira disitulikiti bwebabadde bagenze okutongoza kaabuyonjo eyawemmense obukadde 24.

Wabula ssentebe wa disitulikiti Tom William Sserwanga bano ababoggoledde obutaddamu kuswaza disitulikiti olw'ensonga envunza kabonero ka bucaafu.

Sserwanga abalagidde okunoonya obusa bamaale ebibiina abaana envunza zijja kukendeera.

Ebizimbe abayizi mwe basomera biri mu mbeera mbi binaatera kugwa ku ttaka nga bimezeemu n'ebiswa.

RDC wa Kayunga Rose Birungi yeweredde abatandikawo obusomero okumpi n'amassomero aga gavumenti wabula nga tebulina bisanyizo nti bwonna bwakuggalwawo.

Waliwo n'akasomero akaasangiddwa nga heedimasita ayambadde lugabire n'abasomesa bali mu sapatu era nga kali mu mbeera mbi RDC yalese akaggaddewo.

RDC Birungi agambye nti abasomesa badduka mu massomero aga gavunenti ne bateekawo obusomero okugavuganya era bano bebavaako n'abayizi okugwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....