TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema Namakula amazaalibwa agenze kugakuliza Bungereza

Rema Namakula amazaalibwa agenze kugakuliza Bungereza

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2018

OMUYIMBI Rema Namakula asitula nkya ku Lwokubiri ekiro okugenda e Bungereza gy’agenda okukubira omuziki ku Lwomukaaga nga April 28.

Remanamakulakusaasirakwanjula 703x422

Rema Namakula ng'ayimba mu mukolo gw'okwanjula kwa Catherine Kusasira

Yagambye nti agenda kubakubira ennyimba ze empya n’enkadde nga ‘‘Juice wa Mango, Tikkula, Bannyabo’’ n’endala.

Maneja we, Godfrey Kayemba yagambye nti olutuuka basookera mu kulya mmere kubanga enkya mazaalibwa ga Rema nga ku luno ayagadde kujaguliza wamu n’abawagizi  be ab’e London.

Agenda kuyimbira mu kivvulu ekituumiddwa ‘‘Bannyabo Wooloolo Concert’’ ekigenda okubeera ku Royal Regency Manor Park.

Eno agenda kuttunka n’omugole Kusasira, David Lutalo ne Geo Steady era   abadigize beesunga kulaba ani y’ani mu kukuba omuziki gwa laavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....