TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eyingidde mu bya Jose Chameleone okukuba owa Bukedde

Poliisi eyingidde mu bya Jose Chameleone okukuba owa Bukedde

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2018

BAMBEGA ba poliisi basindikiddwa okunoonyereza ku muyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleone eyasiiwuuse empisa n’akuba n’okutiisa okutta munnamawulire wa BUKEDDE Josephat Sseguya.

Segu 703x422

Sseguya ( ku kkono) ne Chameleone.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emillian Kayima yategeezezza nti abantu naddala ba ‘sereebu’ bateekwa okuwalirizibwa okugoberera amateeka. “Tewali muntu akkirizibwa kutwalira mateeka mu ngalo.

Amateeka gasobola okukukwata era abatakimanyi bakitegeere nti akawaayiro nnamba 236 kassaawo ebibonerezo ebikakali era bwe gukukka mu vvi Omulamuzi asobola okukusiba ebbanga lya myaka etaano,” Kayima bwe yagambye.

Yategeezezza nti bambega ba poliisi bye banaaba bazudde mu kunoonyereza bye bigenda okwesigamwako mu musango.

Yagambye nti omuntu yenna akubiddwa oba atiisiddwa ky’asooka okukola kwekubira nduulu ku poliisi, awo omusango ne guggulwawo.

Sseguya omusango yagugguddewo ku Ssande ku poliisi e Katwe.

Yamaze kulumbibwa kabinja k’abazigu e Nateete mu kiro ky’Olwomukaaga abaagambye nti batumiddwa Chameleone okumulaalika nga bwe bajja okutta Sseguya singa teyeesonyiwa Chameleone.

Kayima yagambye nti omuntu akubiddwa bw’amala okuggulawo omusango, ekiddirira poliisi kuwandiikira muntu oyo ateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka ng’emuyita kubanga abamu bamanyiddwa bulungi era omuntu oyo bw’agaana okweyanjula ku poliisi mu ddembe ekiddirira kukwatibwa wonna we baba bamusanze n’atwalibwa mu kkooti.

Yategeezezza nti bangi beerabira nti okutwalira amateeka mu ngalo, tekikkirizibwa era abamu beeyita baakitalo.

“Ndaba abantu omuli abalina ssente n’abalina amannya naddala basereebu nga beetwala nga bwe baagala ne beerabira nti amateeka weegali.

Etteeka bwe likukwatako osobola okukitegeera era mbalabula okwegendereza enneeyisa yaabwe,” Kayima bwe yagambye. Chameleone yagguddwaako omusango gw’okukuba munnamawulire n’okumutiisatiisa okumutta nga guli ku poliisi y’e Katwe ku fayiro nnamba SD: 59/22/04/2018.

Sseguya alumiriza Chameleone nti yasinziira ku mukolo gw’okwanjula kwa Catherine Kusaasira e Luweero ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde n’amukuba ebikonde mu lubuto n’okumusogamu engalo mu kifuba ebyamulumizza.

Ebyo yabikoze bw’amuweereza agagambo ageesittaza. Mu kiseera Chameleone we yakubidde Sseguya yabadde amwogerera ebigambo omuli: Ggwe wansuula ate okyagenda mu maaso n’okunsuula ng’onjogerera ebigambo ku ttivvi n’okumpandiikako amawulire agatankolera.

Eggulo bannamateeka ba kkampuni ya New Vision efulumya ne Bukedde, baategeezezza nti omusango baaguyingiddemu butereevu era balindiridde kunoonyereza kwa poliisi battunke ne Chameleone mu kkooti.

Olutalo lwa Chameleone ku Sseguya lwewuunyisizza abantu omwabadde n’omuyimbi wa Golden Band Grace Ssekamatte eyawaliriziddwa okutaasa Chameleone.

Ssekamatte yeegattiddwaako omwogezi w’emikolo Issa Musoke eyasabye abaserikale bayambeko okukkakkanya embeera.

Ssekamatte yagambye nti yayingiddewo kubanga ng’oggyeeko okulumya Sseguya, wabula yalabye ng’olutalo Chameleone lwe yabadde asitudde luyinza okucankalanya omukolo.

Eggulo Chameleone ng’ali ne Brian White beekutte ku katambi ne bakaweereza ku mikutu gya bannamawulire nga basaba okutabagana ne Josephat Sseguya era bwe kiba kisoboka amusonyiwe kubanga bonna bantu ba wamu era Chameleone tayagala kusajjula bintu .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...