TOP

Baleese abaserikale 3 okulumiriza Bakaleke

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2018

Baleese abaserikale 3 okulumiriza Bakaleke

Si1 703x422

Bakaleke ku ddyo gwe bataddeko abajulizi basatu

OFIISA wa poliisi Siraje Bakaleke ebintu bimubijjidde bwe baleese abantu basatu okumuwaako obujulizi mu musango ogumuvunaanibwa n’abaserikale abalala bana ku by’okuggya ssente ku Bakorea.

Ssente ezaavaako obuzibu zaali emitwalo gya ddoola 40 (mu za Uganda akawumbi kamu n’obukadde 400). Bino we bijjidde nga poliisi yaakafulumya ekiwandiiko ekiyimiriza ACP Bakaleke ku mirimu gy’okukulira okusomesa ebyobufuzi mu poliisi egyamukwasibwa omwezi oguwedde nga bamukyusa okumuggya ku buduumizi bwa Kampala South gye yafunira ebizibu.

Bakaleke baamuyimirizza n’abaserikale abalala bana okuli ASP Herbert Akankwasa, Robert Asiimwe, Robert Ayebare ne Kaneth Zirintusa. Baabayimirizza okumala ekiseera ekitali kigere basobole okunoonyerezebwako ku by’okuwamba n’okunyaga ssente ku Bakorea abaali bazze mu ggwanga okusuubula zaabu.

Abajulizi abaleeteddwa okulumiriza Bakaleke be baserikale abaasooka okukwatibwa okuli ASP Isaac Munezero eyali akulira eby’ekikessi ku poliisi e Katwe, George Kayongo ne Patrick Ochen. Bano baakwatibwa mu February w’omwaka guno ne baggalirwa e Nalufeenya nga bano okukwatibwa baali batutte Abakorea okuli Park Seunghoon ne Jang Shingu Un ku kisaawe e Ntebe okubatikka ku nnyonyi.

Mu kusooka bakama ba Bakaleke okuli Hajji Moses Balimwoyo ng’ono y’akulira ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku bakozi mu poliisi wamu n’eyabadde omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa baakola siteetimenti eziteeka Bakaleke mu kattu.

Balimwoyo yategeeza nti tewali bujulizi nti Bakaleke yali agenze mu luwummula nga bwe yali yeewozezzaako era Balimwoyo n’akkaatiriza nti likodi za poliisi ziraga nti Bakaleke yali ku mulimu nga February 7, 2018 lwe baakwata bayinvesita Abakorea.

Omuwaabi wa gavumenti yabalagira bakole siteetimenti okunyweza fayiro y’omusango ogwateekebwa ku Bakaleke era Hajji Balimwoyo mu siteetimenti gye yakola yalina okukakasa oba Bakaleke ddala yali muduumizi w’ekitundu kya Kampala South, n’okulaga bakamaabe be yalina okutegeezaako ku kikwekweto kyonna ky’abeera akoze. Balimwoyo yakakasa nti Bakaleke yali muduumizi wa poliisi mu Kampala South, obunyazi obwo we bwabeererawo.

Yagattako nti mu nkola ya poliisi, ebigenze mu maaso byonna, Bakaleke yali alina okubitegeeza ku Mwesigwa kubanga ekiseera ekyo ye yali amutwala. Mu siteetimenti Mwesigwa gye yakola yeegaana eky’okuba nti yafuna okutegeezebwako okuva ewa Bakaleke ng’agenda okukwata Abakorea n’agamba nti yakikola ku lulwe.

Abakorea baasimattuka okuzzibwa e Korea, oluvannyuma lw’abaserikale ku kisaawe e Ntebe okwekengera engeri abaserikale b’e Katwe gye baali babawalaawala nga baagala bave mu ggwanga mu bwangu.

Oluvannyuma Abakoreaa beekubira enduulu ewa Gen. Salim Saleh eyakubira Pulezidenti Museveni essimu n’abimuyitiramu. Museveni amangu ago yalagira buli eyali mu lukwe luno akwatibwa era abantu basatu be baasooka okukwatibwa.

Abantu abo abasatu kati be baleese okulumiriza Bakaleke nga bwe baali bakolera ku biragiro bye mu kukola ekikwekweto ekyo. Mu kusooka Omuduumuzi wa poliisi, Martin Okoth Ochola bwe yali akyali mumyuka wa Gen. Kale Kayihura yali yalagira Bakaleke ave mu ofiisi wabula Gen. Kayihura n’amukyusa n’amutwala mu kitongole ekitabagana n’omuntu waabulijjo n’okuluhhamya ebyobufuzi mu poliisi era n’akwasibwa okukuliramu okusomesa ebyobufuzi. Enkyukakyuka za Bakaleke zeezo Kayihura ze yasembayo okukola.

Mu kiwandiiko ekyafulumumiziddwa poliisi nga April 23, 2018 ekyateereddwaako omukono gwa Hajji Balimwoyo, abaserikale abaakulembeddwa Bakaleke abavunaanibwa okukwata abantu mu ngeri emenya amateeka wamu n’okubaggyako ebyobugagga byabwe mu bukyamu ne babyezibika baalagiddwa okuva mu ofiisi bunnambiro.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango yagambye nti poliisi bw’eneefuna obujulizi obuluma Bakaleke waakutwalibwa mu kkooti eza bulijjo avunaanibwe; wabula obujulizi mu kkooti eza bulijjo bwe bunaaba tebumala waakusimbibwa mu kkooti ya poliisi ekwasisa empisa avunaanibwe okwonoona ekitiibwa n’erinnya lya poliisi.

Kkkooti ya poliisi teyeetaaga bujulizi bungi nnyo okusingisa ofiisa yenna omusango, ate nga mu kkooti eza bulijjo, obujulizi obwetaagisa buba bwa nkomeredde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo