TOP

Walukagga apondoose n’atuuma omwana erinnya

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2018

Walukagga apondoose n’atuuma omwana erinnya

Wa2 703x422

Namugerwa akuumirwa mu kimu ku bifo bya Gavumenti ekitannamanyika. Mu katono ye Walukagga.

MATHIAS Walukagga apondoose n’akkiriza okulabirira omwana wa yaaya. Amutuumye erinnya ly’ekika, n’ategeeza nti eby’okumukebera omusaayi si wa kubimaliramu budde.

Walukagga yategeeza nga bw’atagenda kugenda mu kyuma kumuggyako musaayi okuzuula endagabutonde, yeekyusizza n’akkiriza nti, ng’omwana bwe yamufunidde edda n’erinnya n’ategeeza nti, “minisita teyeemenya nze omwana namuwadde dda erinnya.

Ye Kabazzi ery’omukulu w’ekika kyange eky’Akasimba”. Yategeezezza nti ekimukozesezza kino amaze kukizuula nti waliwo olukwe olupangiddwa nga ne bwe banaamukebera era ebbaasa egenda kuvaayo ng’eriko mannya ge nti ye kitaawe w’omwana.

Yagasseeko nti, “njagala Gavumenti eggyeyo omwana ne maama we gye babakwese twogere ku kya ssente mmeka ze baagala okubawa buli mwezi oba wiiki kubanga nze nkooye katemba gwe bantaddemu.” Walukagga akombye ku ppaasi n’agamba nti minisita Nakiwala Kiyingi by’aliko yeerimba eby’okumukebera omusaayi okuggyako nga bamusindikidde poliisi emukwate naye talina gy’alaga. Kyokka kino Gavumenti si ky’eyagala ekyalemeddeko nti, eyagala bamukebere omusaayi bazuule taata w’omwana omutuufu awatali kubuusabuusa.

Minisita omubeezi ow’ensonga z’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala yagambye nti abakozi ba minisitule be yalagira okukola ku nsonga z’okukebeza Walukagga n’omwana gwe yeegaana bwe bamalirizza enteekateeka zonna ezeetaagisa.

Kyokka teyalambuludde ku kya mpapula za kkooti n’olunaku lwe bagenda ku musaayi ng’agamba nti, ali wakati mu lukiiko tasobola kwogera kiwanvu.

Walukagga yasooka kutegeeza nga bw’ali omwetegefu okugenda ku musaayi bamukebere okuzuula oba nga ddala omwana wa Aisha Namugerwa eyali omukozi we oba ye kitaawe. Yagamba nti okukebera omusaayi kye kyali kigenda okwanika obulimba bw’abakazi.

Kyokka oluvannyuma yejjulula n’agamba nti tajja kulinnyayo kuba omuwala tamwagalangako ng’olubuto terulina ngeri gye lusobola kuyita mu bbanga. Namugerwa agamba nti yali akola obwayaaya ewa Walukagga e Maya mu 2015, nga mukyala wa Walukagga ayitibwa Mariam taliiwo nti era gwe mukisa Walukagga gwe yakozesa okukakkana ng’amufunyisizza olubuto.

Ayongera okulumiriza nti Mariam bwe yakomawo mu maka, Walukagga yamugamba nga bw’atagenda kusobola mukazi we era n’amuwa amagezi agira adda e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende. Mu kiseera ekyo agamba nti yali amaze okufuna olubuto nga lwa myezi esatu era nga ne Walukagga akimanyi.

Oluvannyuma yamuwa amagezi baggyemu olubuto, kyokka bwe yeebuuza ku nnyina n’amuwabula nti takigeza kuba kyali kiyinza n’okumuleetera okufiirwa obulamu. Omwana mu kiseera kino wa mwaka gumu n’emyezi kkumi era nga bwe yazaalibwa Walukagga baamutegeeza. Okusinziira ku Namugerwa, Walukagga yeegaana n’amugamba asooke amuweereze ebifaananyi.

Yamusindikira ssente 30,000/- ku ssimu, kyokka olwatunula ku bifaananyi n’amutegeeza nti, ye tazaala baana ba mitwe minene. Okuva olwo Walukagga yagaana okuddamu okwogeraganya n’omuwala era nga mu kiseera kino ne bw’akuba ku nnamba ye ey’essimu tekyayitamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sos1 220x290

Mukulembeze emirimu gya Ssaabasajja...

Mukulembeze emirimu gya Ssaabasajja - Kaggo Nakibirige

Vo1 220x290

Museveni azzeemu okulabula abali...

Museveni azzeemu okulabula abali b'enguzi

Tap13 220x290

Omujaasi abadde atambuliza emmundu...

Omujaasi abadde atambuliza emmundu mu kidomola bamukutte ku by'okutta aba Mobile money

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...