TOP

Gavumenti etadde omusolo ku boda boda

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2018

Gavumenti etadde omusolo ku boda boda

Yet1 703x422

Minisita Bahati

GAVUMENTI eraze ensonga ezigiteekesezza omusolo ku Whats App, Facebook, amafuta, butto, omwenge ne bodaboda okutandika mu July w’omwaka guno. Minisita omubeezi ow’ebyensimbi yasinzidde mu Palamenti mu kakiiko k’ebyensimbi akakubirizibwa Henry Musasizi (Rubanda East) n’ategeeza nti Gavumenti eri mu kunoonya ssente ezinaakozesebwa okutuusa obuweereza mu bantu okuli; okuzimba enguudo, amasomero, amalwaliro n’ebyetaago ebirala.

Yategeezezza nti emikutu mugattabantu nga WhatsApp, Facebook, n’emirala okutandika ne July w’omwaka guno omuntu okugikozesa baakumuggyako100 buli lunaku. Abaagala bajja kubeera baddembe okusasula 36,000/- omwaka gwonna. Gavumenti yaakukolagana butereevu n’amakampuni g’amasimu okulaba nga ssente zino zisalibwa ku buli nnamba ya ssimu ebeera ekozeseddwa.

Kyokka singa omuntu abeera takozesezza mikutu gya mugatta bantu tajja kuwoozebwangako ssente yonna. Bahati yakkirizza nti kituufu abantu bawa emisolo mingi, kyokka ne Gavumenti terina ngeri gyesobola kubatuusaako buweereza bwe beetaaga nga tesoloozezza misolo. Eky’okuba ng’abantu basangiddwa nga basasula omusolo ku ‘airtime’ gwe bateeka ku ssimu, Bahati yagambye nti bakimanyi era y’ensonga lwaki n’omusolo oguteereddwako musaamusaamu.

Gavumenti mu kaweefube w’okugaziya enyingiza etadde omusolo ku pikipiki ezivuga bodaboda nga zaakuwandiikibwa nga buli emu mu kuwandiisibwa esasula 200,000/-. Kino kijja kukolebwa mu ggwanga lyonna. Gavumenti eyagala buli muntu aba asindika ssente ku ssimu aggyibweko omusolo gwa kitundu kimu ku buli 100 ekya ssente z’aba asindika.

Okugeza bw’obeera ng’osindika 100,000/- oggyibwako omusolo gwa 1,000/-. Ssente zino ziggyibwa ku muntu asindika ssente yekka, abeera aggyayo tazisasula. Kkampuni z’amasimu bazongeddeko omusolo ku magoba ge zikola okuva ku bitundu 10 okutuuka ku bitundu 15 ku buli 100/-.

Amafuta nago gongeddwako omusolo nga buli liita y’amafuta awatali kwawula kika bagyongeddeko omusolo gwa 100. Ssente ezinaava ku mafuta zaakuyamba okuddaabiriza enguudo eziba zoonoonese.

Emmotoka enkadde eziwezezza emyaka omunaana n’okweyongerayo tezigenda kuddamu kukkirizibwa kuyingizibwa mu ggwanga. Kino kikoleddwa okutaasa obutonde bw’ensi nga kitandika mu September w’omwaka guno. Ebibiina by’obwegassi ebya SACCO biteereddwako omusolo gwa bitundu 30 ku buli 100 ku magoba ge babeera bakoze.

Gavumenti ekizudde nti ebadde bizinensi abantu mwe bafuna amagoba, kyokka nga tebasasula musolo. Emisolo gyonna waggulu gireeteddwa mu bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2018/ 2019.

Mu kaweefube wa Gavumenti okwanguyiza abantu emirimu bagenda kuwandiisa bizinensi mu nnaku bbiri n’okwongera ku tekinologiya alondoola ebyamaguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...