TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaabaddewo nga Chameleone akuba Sseguya bakoze sitatimenti

Abaabaddewo nga Chameleone akuba Sseguya bakoze sitatimenti

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2018

Abaabaddewo nga Chameleone akuba Sseguya bakoze sitatimenti

Jop1 703x422

Chameleone (ku ddyo) ng’awemula Sseguya ku mukolo gwa Kusasira.

ABAABADDEWO nga Jose Chameleone akuba munnamawulire wa Bukedde, Josephat Sseguya bakoze sitatimenti ku poliisi nga bamulumiriza okumukuba.

Kigambibwa nti nga April 20, 2018 ku mukolo gw’okwanjula kwa Catherine Kusasira ne Fred Sserugga e Luweero, Chameleone bwe yamaze okuyimba n’alumba Sseguya ng’alinga amubuuza n’amukuba ebikonde ku lubuto. Ekyaddiridde kumuvuma ng’akozesa ebigambo ebiwemula.

Godfrey Katongole eyalaba ebyaliwo yategeezezza poliisi y’e Katwe nti, Chameleone yava mu mbeera ng’alinga alina ekimusindika okutaama n’akuba Sseguya oluvannyuma n’amubaka ekibegabega nga bw’amuvuma ebigambo ebyobuwemu.

Yagasseeko nti abasinga we baategeerera olutalo nga Chameleone akutte Sseguya ebibegabega. Ebyasooka eby’okumukuba batono abaabiraba kubanga amaaso gaali ku Kusasira ne bba Sserugga.

Eyakwassiddwa okunoonyereza ku musango guno, Christopher Namanya yasabye abalina obujulizi okubuwaayo ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Omusawo wa poliisi yakebedde Sseguya eggulo nga Sseguya agamba teyasooka kuwulira bulumi mu lubuto n’ekifuba wabula nga kati olubuto Chameleone mwe yamukuba ebikonde lumuluma. Balooya ba kkampuni ya Vision Group evunaanyizibwa ku Bukedde, Josephat Sseguya mw’akola ensonga baziyingiddemu okuvunaana Chameleone.

Ku Mmande, omwogezi wa poliisi, Emilian Kayima yalabudde abeeyita Bassereebu okukomya okwetwala ng’abali waggulu w’amateeka kubanga okukuba omuntu musango. Yasomye etteeka nti okukuba omuntu ne bw’oba tamulumizza nnyo, osibwa omwaka gumu ate ssinga alumizibwa osibwa emyaka etaano n’ebibonerezo ebirala.

Ku Ssande, Sseguya yaggudde ku Chameleone emisango ku fayiro nnamba SD; 59/22/04/2018 okumutiisatiisa okumukolako obulabe n’okumutta kwe yagasse ogw’okumukuba. Wabula Chameleone ku Mmande yategeezezza nti teyakubye Sseguya wabula yamulabudde bulabuzi nga mukwano gwe alekere awo okumwogerako obubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte