TOP

Cameroon Gitawo abbulukukidde mu byamizannyo.

By Martin Ndijjo

Added 25th April 2018

Cameroon Gitawo omu ku bavubuka abamanyiddwa mu nsike y’okulya obulamu ne swagga azzeemu okulabika ku mulundi guno ajjidde mu byamizannyo

Git 703x422

Mubiru (ku kkono) akutte egimu ku middaali gy'abawanguzi Gitawo gye yabawadde

Oluvannyuma lw'ebbanga nga asiriikiridde mu ggwanga talimu n’abawagizi be beebuuza gye yabuulira, Cameroon Gitawo (Chris Mbibo) omu ku bavubuka abamanyiddwa mu nsike y’okulya obulamu ne swagga azzeemu okulabika kyokka ku mulundi guno ajjidde mu byamizannyo.

Gitawo omu ku Bannayuganda abakolera e South Africa eyaali akulira ekibiina kya ‘The Money Team Africa (TMT) yatadde ssente mu mpaka z’okusitula obuzito ezitumiddwa ‘RM Power Lifting Championship & Cross Fit’ ezitegekeddwa ku Kabira Country Club e Bukoto ku Lwomukaaga luno.

itawo ku ddyo ne ubiru nga bali ku kyemisaanaGitawo ku ddyo ne Mubiru nga bali ku ky'emisaana

 

Gitawo agamba okusiriikirira abadde ‘bbize’ mu pulojekiti ze ez’enjawulo omuli n’amasomero g’alina mu bibuga bya South Africa eby’enjawulo  wabula olw’okuba munnabyamizannyo avuddeyo okutumbla omuzannyo guno.

Munnayuganda kafulu mu muzannyo guno , Roy Mubiru abeera mu Amerika  era nga yategese empaka z’Olwomukaaga  asiimye Gitawo olw’obuwagizi bwabawadde omuli emiddali gy’abawanguzi mu mitendera egy’enjawulo, ssente enkalu n’ebintu ebirala kuno agasseko okukoowoola abavubuka abalala abalina ssente okubawagira.

 itawo ku mmotoka ye Gitawo ku mmotoka ye

 

Mubiru agamba ekigendererwa kya kwongera kwagazisa bavubuka muzannyo guno okulaba nga gutandikibwawo ne mu matendekero aga waggulu era bakola ku nteekateeka za kukyaza Omumerika kafuulu mu mpaka zino Arnold Schwarzenegger  wano mu ggwanga okwongera okutumbula omuzaanyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekibiina ky'amawanga amagatte kifulumizza...

Ekibiina ky'amawanga amagatte kifulumizza alipoota ku mazzi n'obutonde

Jac1 220x290

Jackson Mayanja anoonya wiini ya...

Jackson Mayanja anoonya wiini ya kubiri mu Kyetume FC

Reigns 220x290

Munna UPC kakongoliro afiiridde...

MUNNA UPC omukazi eyayatiikirira ennyo ku mulembe gwa Dr. Milton Obote II era ng’abadde mpagi luwaga mu kibiina...

Webpookinomayigangweb 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Kisekulo yanokoddeyo eddwaaliro lya Nkenge Health Center ll mu ggombolola y’e Kasaali ne Buyiisa Health Center...

Lukaku 220x290

ManU esattira lwa buvune bwa Lukaku...

Okuva Solskjaer lwe yajja, Lukaku y'omu ku bazannyi ababadde bezzizza obuggya ne bayamba ttiimu okuwangula.