TOP

Bakoze kkampuni eyoza mu ssente ne babba abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2018

RAMATHAN Mulindwa ng’oluusi yeeyita Sheikh Swaibu Mulindwa abadde asinziira mu kkampuni ye ekya ‘Kis Network’ abantu mwe babadde bassa ssente n’abasuubiza okufuna amagoba ag’amangu ate nga mangi awatali kumenyeka.

Bba 703x422

Akapande akalaga z’ossaamu ne z’ofuna buli wiiki.

Bya SAUYAH NAMWANJE

Omu ku baaluguddemu ye Abubakar Kange 28, abadde akuba ekyeyo mu kibuga Riyadh e Saudi Arabia era agamba nti, kumpi buli ssente z’abadde akola abadde azissa mu ‘Kis Network’ afune az’amangu.

Mu mwaka oguwedde Sheikh Mulindwa yatondawo omukutu gwa WhatsApp ng’awuliziganya n’abantu ab’enjawulo b’abadde asomesa engeri y’okufunamu ssente mu nkola eno ey’okuyunga abantu ku balala.Kange agamba nti, bonna bwe baali ku WhatsApp tebaasisinkanako mu buntu okuggyako okukoma ku yintaneeti kwe baasomeranga.

Kange agamba nti, oluvannyuma yassaamu ssente kyokka tebamuwanga wadde 100/- okuggyako okumutegeeza nti, ssente ze zeeyongera buli wiiki.

Oluvannyuma lw’okusaba Sheikh Mulindwa ssente nga tazirina yamugguddeko omusango ku poliisi e Kibuli olw’okulemera ssente eziwerera ddala 163,400,000/- okuva ku; Swaibu Kasujja, Swaibu Haroub, Abdul Ahad Lukwago, Abdurahmani Mbaziira, Abubakar Kange, Yasin Isa Adam Nyombi n’abalala. Omusango guli ku fayiro CRB: 664/2018 e Kibuli.

KIS NETWORK KYE KI?

Ofiisi zaabwe zibadde Wandegeya ku kizimbe ekiriko akatale ku mwaliiro ogwokubiri akasenge nnamba 35. Kyokka kati bw’otuukawo ebipande ebibaddeko n’endagiriro byatimbuluddwa.

Nagezezzaako okunoonya Sheikh Mulindwa ng’ennamba ze ezimanyiddwa teziriiko.
Abantu babadde bateekayo okugeza ssente 383,000/- buli wiiki ne bakuwa 50,000/- okumala ebbanga lye bakugeredde buli wiiki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup