TOP

Nnamwandu wa Mabiriizi afudde mu ntiisa

By Hannington Nkalubo

Added 25th April 2018

NNAMWANDU w’omugagga Godfrey Mabiriizi, Ruth Nassiwa Mabiriizi 52, abadde abeera e Bugoloobi afudde mu ntiisa.

Mabi 703x422

Omugenzi Ruth Nassiwa Mabiriizi ne famire ye. Ku ddyo ye mugenzi Mabiriizi

Omugenzi obulwadde bwamukutte ku ssaawa nga 8:00 ez’ekiro ekyakeesezza ku Lwokusatu. Aba famire baagenze okutegeera ng’amaze okufa.

Omugenzi mu nnyumba abadde asulamu ne muwala we Sonia Nalubega ow’emyaka 15.

Yazaala abaana bana okuli; Sandra Nantumbwe Miiro, Samalie Mabiriizi, omusika wa Mabiriizi Stuart Mabiriizi ne Sonia Nalubega.

Stuart Mabiriizi yategeezezza nti maama we abadde mulamu bulungi wadde emabegako abadde atawaanyizibwa omutwe.

Obulwadde bw’omutwe tebubadde bw’amaanyi era ng’akola bulungi emirimu gye. “Kitalo okufiirwa maama nga talwadde. Tetumanyi kizibu kwe kyavudde naye yafiiridde waka,”bwe yategeezezza.

Omugenzi Mabiriizi yafa nga February 25, 2014, era yaleka bannamwandu babiri.

OKUZIIKA

Aba famire ne mikwano gy’omugenzi omwabadde abagagga ab’omu Kampala okuli Godfrey Kirumira, Dick Kizito, Fred Kajoba, Vincent Kagambo n’abeemikwano baatuuzizza olukiiko ne balonda omugagga Dick Kizito okukwanaganya eby’okuziika.

Leero ku ssaawa 4:00 ez’oku makya wagenda kubaawo okusaba mu kkanira y’Abatukuvu bonna e Nakasero n’oluvannyuma aziikibwe ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo e Kibuye - Luwanga e Kakiri.

Mabiriizi bwe yafa abakyala baasooka butakkaanya ku kifo we balina okukuumira olumbe.

Okutuuka mukyala muto ow’e Naggulu bwe yasinza amaanyi omulambo ne bagutwala mu maka ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...