TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti eraze engeri Buganda gye yaggyibwa ku maapu ya Uganda

Gavumenti eraze engeri Buganda gye yaggyibwa ku maapu ya Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

GAVUMENTI eraze engeri gye baatuuka okuggya Buganda ku maapu ya Uganda, ekintu ekibadde kyewanisizza emitima gy’Abaganda.

Sarahopendi703422 703x422

Minisita w’eggwanga ow’ebyobulamu, ebisookerwako Sarah Opendi

Sarah Opendi, minisita omubeezi ow’ebyobulamu bwe yabadde mu Palamenti ku Lwokubiri ng’ekubirizibwa omumyuka wa Sipiika, Jacob Oulanyah yategeezezza nti, bwe baalondodde ensonga eno baazudde nga waaliwo omukozi wa minisitule eyakola ensobi n’akozesa maapu ya Uganda enkadde eyeeyambisibwa ku mulumbe gwa Obote1, etalaga kifo kya Buganda.

N’agamba nti, “nange kennyini kyanneewuunyisizza okulaba nga maapu tekuli Buganda ate ng’ebitundu bya Uganda ebirala kwe biri. Neetonda olw’ensobi eyakolebwa era mbakakasa nti, kino kigenda kutereezebwa era ku maapu endala ezinaddamu okufulumizibwa Buganda ejja kuba erambikiddwa bulungi”.

Minisita okwetonda kyaddiridde Johnson Muyanja Senyonga (Mukono South) era ssentebe w’akabondo k’ababaka ba Buganda okusaba Palamenti etangaaze ekyaggyisa Buganda ku maapu ya Uganda.

“Tukitwale nti Uganda yeggyeeko Buganda nga bwe tuludde nga tuwulira? Twagala Gavumenti etereeze ensobi eno mu bwangu ng’abantu ba Buganda tebannaba kukitwala nti beetwala bokka,” Senyonga bwe yategeezezza. Opendi baagenda kuwandiikira Kabaka ne Mmengo mu butongole nga beetonda olw’ensobi eyakolebwa.

Medard Lubega Seggona (Busiro East) yeebazizza minisita olw’okwetonda kyokka n’ategeeza nti kijja kubanguyira okubasonyiwa nga bamaze okutereeza ensobi gye baakola ku maapu.

N’agamba nti, ekijja okusanyusa Abaganda kwe kulaba ng’ensobi etereezeddwa era n’etaddamu kukolebwa.

Yeewuunyizza okuba nga bw’abeera ayingira Palamenti ku mulyango omunene alabawo ekifaananyi ekiraga ebitundu ebikola Uganda yonna nga ne Buganda kweri!

Diana Atwine, omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule y’ebyobulamu ye yasoose okuvaayo ku ntandikwa ya wiiki ne yeetonda olw’ensobi eyakolebwa abakozi ba minisitule gy’atwala.

Ensonga ya maapu ya Buganda, okuvaayo kyaddirira Kabaka okusinziira ku mukolo gw’amazaalibwa ogwali e Villamaria mu ssaza ly’e Buddu ne yeemulugunya olw’abaafulumya maapu ya Uganda ng’ekitundu kya Buganda tekiragiddwa.

Maapu eyasinga okuleeta obuzibu yali eraga engeri abaana gye baali bagemeddwaamu mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo.

Ekitundu kya Buganda kyalagibwa nga North Central ne South Central, kyokka ebitundu ebirala nga, Bukedi, Bunyoro, Tooro, Ankole nga kwe biri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...