TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ambaasada Ssemuddu gw'alumiriza okumwagalira omukazi awanda muliro

Ambaasada Ssemuddu gw'alumiriza okumwagalira omukazi awanda muliro

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

OMUSAJJA alumirizza ambasadda Dr. Yahaya Ssemuddu okumusibisa mu kkomera ng’amuteebereza okumwagalira omukazi azzizza omuliro. Atiisizza okuwawaabira omukazi singa asazaamu bizinensi ze baatandika bonna.

Kufa 703x422

Ambaasada Ssemuddu ne Jabar

Ali Abdul Jabar olumuyimbudde mu kkomera e Kigo, azze ku ofiisi za New Vision ne Bukedde n’ategeeza nga Ambaasada Ssemuddu bwe yateeka ssente mu musango gwe ne bamusiba.

Jabar yalumirizza nti Ssemuddu yamusibisizza ng’amuteebereza okumwagalira mukyala we, Rukiya Abdul Rahman kyokka ng’akimanyi nti bali mu bizinensi.

Annondoola ku ssimu na buli gye ntambulira. Yalaze obubaka bw’agamba nti babaddenga boogeraganya. Ekinneewuunyisa Ambasada yaliwo ku mukolo gw’embaga yange.

Jabar agamba nti atwala Rukiya mu kkooti singa agezaako n’asazaamu kontulakita gye bakkiriziganya ey’okuddukanya bizinensi kubanga twagikola mu bulambulukufu.

“Kontulakiti gye twakola eraga engeri gye tugenda okuddukanyaamu bizinensi zaffe ffembi oluvannyuma lwa bba ambasada Ssemuddu okukkiriza mukyala we nkolagane naye.

Wabula bwe basalawo okugisazaamu balina okundiyirira ssente 450,000,000/- kubanga sigenda kukkiriza kufi irizibwa,” Jabar bwe yagambye.

Jabar agamba nti, “Ebiseera byange ebisinga mbadde bweru Ambasada Ssemuddu gw’alumiriza okumwagalira omukazi azzizza omuliro wa ggwanga era twasisinkana ne Rukiya mu October omwaka oguwedde ng’omu ku bantu be nninako oluganda kubanga bakojja bange bagenze bawasa mu famire zaabwe.

Twakwatagana bulungi era twasalawo tukozese omukisa gwa bba ng’omukulu mu ggwanga tukole bizinensi. Rukiya yannyunga ku bba kubanga ne tukwatagana naye ne tukkkaanya n’anzikiriza okukolagana ne mukyalawe mu bya bizinensi.

Kyokka emirimu gigenda mu maaso ate ambasada Ssemuddu ankyukidde ng’annumiriza okuganza mukyala we, ekyavuddeko okunsiba.

ENGERI GYE YAKWATIBWA

Abasajja be simanyi bankwatira mu Kampala nga ndi ne famire yange ne bantwala ku poliisi y’e Katwe gye bansuza.

Oluvannyuma bantwala ku y’e Kajjansi ne banteekako emisango gy’okutiisatiisa Ambasada n’okukozesa obubi kompyuta n’okuvuma ambasada Ssemuddu.

Bantwala e Katwe oluvannyuma ne bantwala e Naggulu mu kitongole kya CCTT.

Kyokka mu kifo ky’okuntwala mu kkooti ya Buganda Road oba Nakawa bantutte Kajjansi nga nkikakasa ambasada Ssemuddu yabadde ensonga aziremeddeko.

Bansaba ekyapa ky’ettaka lyange ne ηηaana era abanene bamaze kuyingira mu nsonga zange oluvannyuma omulamuzi akulira kkooti eno e Kajjansi, Mary Kaitesi kwe kunnyimbula ku kakalu ka kkooti Okwogera ne ambasada Ssemuddu kugudde butaka olw’essimu ye obutabaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu

Uhurukenyatta 220x290

Coronavirus: Kenyatta asaze omusolo...

Pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyatta alangiridde nga bw’asaze emisolo mu kaweefube w’okuyamba Bannakenya mu mbeera...

1175942533jpg0 220x290

Coronavirus: Amerika ewadde bannansi...

AMERIKA ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu ddoola 1,200/-, ze ssente eza Uganda obukadde 4 n’ekitundu...