TOP
  • Home
  • Busoga
  • Omubaka wa Budiope East bamuwadde obutwa

Omubaka wa Budiope East bamuwadde obutwa

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

OMUBAKA wa Budiope East mu disitulikiti y’e Buyende, atiisizza abantu b’akiikirira oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti baamuwadde obutwa nga kati ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Case Clinic mu Kampala.

Dhamuzungukukitandamcaseclinic 703x422

Dhamuzungu ng'ali ku kitanda afuna obujjanjabi. Ku ddyo nga bw'afaanana.

Geofrey Dhamuzungu yalidde obutwa nga kigambibwa nti eyabumuwadde yabumuteeredde mu mmere era olwagimazeewo n’atandika okulumizibwa olubuto n’oluvannyuma ne luzimba n’addusibwa mu ddwaaliro.

Bagamba nti olwabadde okulya emmere olubuto ne lutandika okutumbira kyokka gwe yabadde naye ne yeefula alina by’awandiika ku ssimu ng’ekyaddiridde kw’abadde kuvaawo n’amulekawo.

Baasoose kunyumya ng’alinga amumanyi n’oluvannyuma n’amusaba okumutwalako ku kyemisana.

Obutwa kigambibwa nti yabulidde ku Mmande emisana ng’amawulire gaasasaanye mu kitundu kya kikiirira ku Lwokubiri. Kyokka Sharif Mangaraine yategeezezza nti embeera ye egenze etereera nga kati asobola okunyumya byonna ebyabaddewo.

YAGANJA LWA KUMANSA SSENTE

Ebyobufuzi yabiyingira mu 2011 ng’akyakolera mu Stanbic Bank, bwe yatandika okulamusa ku bantu ng’abeera mu nnyimbe, ebijaguzo by’abayizi okuyita ebigezo, okwanjula n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yogo 220x290

Ababaka balumurizza UPDF ku kutulugunya...

ABABAKA ba Palamenti bongedde okwanja obujulizi ku magye ga UPDF okutulugunya, okutyoboola eddembe ly’obuntu n’okusaanyaawo...

Wano 220x290

Mugisha Muntu y'ani?

Amannya ge ye Gregory Mugisha Muntuyera, kyokka amanyiddwa nnyo nga Mugisha Muntu.

Cause 220x290

Mugisha Muntu avudde mu FDC aba...

MAJ. Gen Mugisha Muntu 59, olwalangiridde nti ayabulidde FDC, abawagizi ba Dr. Kiiza Besigye ne bacacanca nti bamuwonye...

Tuga 220x290

Sudhir yeezoobye n’abaakakiiko...

AKAKIIKO akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka keezoobye n’omugagga Sudhir Rupaleria ng’akabuuza lwaki keesibye ku...

Dp 220x290

Aba DP balabudde Mbidde ne Mpuuga...

TTABAMIRUKA wa UYD - DP Reunion bamutaddemu obukadde 60 okwawukana ku nkiiko endala ze babadde batuuza.