TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akwatiddwa ku by’okutta omukulu w’essomero e Rakai

Akwatiddwa ku by’okutta omukulu w’essomero e Rakai

By John Bosco Mulyowa

Added 27th April 2018

POLIISI ng’eyambibwako ebitongole by’ebyokwerinda bakutte Omutanzania agambibwa okubeera mu kibinja ekyasse eyali omukulu w’essomero lya Gavumenti erya Kabaale Primary School e Rakai.

Wada 703x422

Najjagwe eyatiddwa.

Didas Lucas ye yakwatiddwa nga baamuggye mu disitulikiti y’e Mukono.

Ettemu lino lyabaddewo wiiki ewedde e Luseese - Beteleemu mu ggombolola y’e Nabigasa mu disitulikiti y’e Kyotera, abatemu bwe baalumbye Sulaina Najjagwe 60, ne bamutta mu bukambwe ne batwala n’ebimu ku bintu by’omu nnyumba omwabadde ne ttivvi.

Kigambibwa nti Didas Lucas yali omukozi mu nnimiro ya Najjagwe nga yali amugobye nga kirabika kye kyamunyiizizza n’asalawo okumutta. Kigambibwa nti Lucas bwe yamaze okutta Najjagwe n’addukira e Kisoga e Mukono gye baamukwatidde.

Eteemu lino lyasattizza ab’e Kyotera nga balowooza nti abeebijjambiya be baabadde balumbye ekitundu kyabwe.

Abakulembeze nga bali ne ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera Patrick Kintu Kisekulo ne Robert Benon Mugabi ow’e Rakai baavaayo ne bategeeza nga bwe bagenda okukola kyonna ekisoboka okulaba ng’ettemu balimalawo mu kitundu kyabwe.

Kintu Kisekulo bwe yali mu lumbe yategeeza nga bwe yali aweze zzaala, luddo n’amatatu ng’agamba nti abavubuka bazannya olunaku lulamba ne balemererwa okukola emirimu egivaamu ssente.

N’agamba nti abavubuka abaggwa mu kiti kino ssente bwe zibabula nga balumba abantu be bateeberezza nti bazirina nga babatta n’okubatuusaako obulabe.

RDC w’e Kyotera, Pamela Watuwa naye yalaga okutya olw’abantu abasatu abattibwa olunaku olumu mu bifo ebyenjawulo e Kyotera n’ategeeza nga abeebyokwerinda bwe batatudde wabula bakola butaweera okulaba nga abatemuy bakwatibwa era bavunaaninwe.

Omwogezi wa poliisi e Masaka, Lameck Kigozi yategeezezza nti, mu kunoonyereza kwabwe baasobodde okukwata Lucas eyali omukozi mu nnimiro ya Najjagwe nga baamusanze Kisoga gye yabadde yeekukumye.

N’agamba nti Lucas okudduka yasooka kumanya nti poliisi n’abeebyokwerinda abalala bamulinnya kagere era abantu baayambye poliisi okumuzuula gye yabadde yeekwesse.

Kigozi yagambye nti wadde Lucas yakwatiddwa poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza okuzuula abantu abalala babadde akolagana nabo.

Najjagwe yagenze okuttibwa nga poliisi yalamala okukwata Musa Galiwango ne Muhamad Kiddamalime ng’amaze okuttibwa nga bano be batemu abeebijambiya abaatoloka nga batwaliddwa mu kkooti e Masaka okuvunaanibwa okutta n’okulumya abantu mu kitundu kya Greater Masaka.

Galiwango ejanjabirwa mu ddwaaliro ly’e kkomera e Luzira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata