TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Babiri bafudde mu kanyoolagano ka Poliisi n'abatabbuliki ku muzikiti gw'omukisenyi

Babiri bafudde mu kanyoolagano ka Poliisi n'abatabbuliki ku muzikiti gw'omukisenyi

By Ponsiano Nsimbi

Added 28th April 2018

Babiri bafudde mu kanyoolagano ka Poliisi n'abatabbuliki ku muzikiti gw'omukisenyi

Sa3 703x422

Abasirikale nga bakuuma ekifo awabadde omuzikiti

ABANTU babiri bafiiridde mu kanyolagano wakati wa poliisi, amagye, n'Abatabbuliiki mu kisenyi mu ki ekikeesezza olwaleero. 

Olutalo lw'atandise ku ssaawa 2:00ez’ekiro  mu Luzige zooni ku muzikiti gwa batabbuliki oguliraanye ppaaka ya Ttakisi mu Usafi era lw'agenze okuggwa ng’abantu babiri batiddwa nga n’omuzikiti gumenyeddwa wakati mu poliisi okuwandagaza amasasi n'omuka ogubalagala mu bantu.

Wakati mu kulwangana kuno abasirikale ba poliisi babiri balumiziddwa ng’omu yatemeddwa omukono.

Ensonda zategeezezza nti poliisi okulumba omuzikiti guno yamaze kutemezebwako nga we waliwo abasajja abaali mu lukwe lw’okutta Suzan Magara abekukumye mu kifo kino.

Poliisi n'amagye banunudde abantu abasoba mu 100 mu muzikiti guno abagambibwa nti babadde bawambibwa  okubadde abakazi n’abaana abato.

Ebiralala ebyazuuliddwa mu muzikiti guno omwabadde n'akasomero k'abaana kuliko amasasi,ebyambalo ne densite zamagye.

Mohammed Ssebugwawo akulira eby’okwerinda mu kitundu yategeezezza nti poliisi okulumba omuzikiti guno nyini gwo era abadde agukulira Ibrahim  Kimera agambibwa okuba nga yali muyekera wa ADF yamaze kufa n'aziikibwa e Nkowe ku Lwokutaano .

Yayongeddeko nti abakulira omuzikiti guno babadde tebakolegaana na muntu atabakkiririzaamu era nga babadde babekengera dda ne batemya ku poliisi kyokka ne batayambibwa.

Mu muzikiti muno mubaddemu akalwaliro ,okasenge mwe basomesezza abaana,Kabuyonjo n'effumbiro.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilino Kayima yakakasizza okuttibwa kw'abantu babiri bano n’okununula abakyala n'abaana ababadde bawambibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’