TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze Thieves Oil (Butto w'ababbi) agoba endwadde mu bantu, ebirime n’ebisolo

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze Thieves Oil (Butto w'ababbi) agoba endwadde mu bantu, ebirime n’ebisolo

By Musasi wa Bukedde

Added 28th April 2018

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze Thieves Oil (Butto w'ababbi) agoba endwadde mu bantu, ebirime n’ebisolo

BAMUYITA butto w’ababbi (thieves oil), naye oyinza okwebuuza oyo ate ava ku muti ki? Erinnya lino lya byafaayo, Ku mulembe gwa Ssekabaka Henry owa Bungereza, ebiseera by’obutiti nga bangi tebanaaba ekyavangako okulumbibwa endwadde z’ensusu omwali ne kawumpuli. 

Abazungu bangi baafa obulwadde buno. Kyokka waaliwo ababbi bana abaakozesa omukisa guno okukola ssente. Omulimu gwabwe gwabanga gwa kunyagulula mirambo era wadde abantu okugikwatako nga basooka kwesabika, naye ababbi bano nga tebaambala kantu konna okuginyaga! 

Kino kyewuunyisa Kabaka Henry eyalagira bakwate ababbi bano okuzuula engeri gye babbamu emirambo ate ne batakwatibwa kawumpuli. Bwe baabakwata ne babasalira omusango gw’okufa, wabula Kabaka Henry n’agamba nti, ssinga boogera engeri gye banyagulula emirambo ne batakwatibwa kawumpuli ng’abasonyiwa.

Ababbi baayogera butto gwe baakozesanga era okuva olwo ne bamutuuma ‘Thieves oil’ ekivunnuulwa nti Butto w’ababbi. 

Butto ono nga bwe bamwesiiga bakwata ku mirambo kuba yalinga atta obuwuka obuleeta kawumpuli. Butto ayogerwako atabulwamu ebika eby’enjawulo okuli ow’akakomera, Rosemary, kalittunsi, enniimu ne ‘Apple cider vinegar’ nga bwe bamwesiiga kawumpuli tabakwata.

Ababbi bano beegulira erinnya naawe osobola okubasomako ssinga oteeka mu yintanenti ekigambo ‘History behind thieves oil’.      Newankubadde kawumpuli takyaliwo, naye ate ebimwefaananyirizaako weebiri okugeza yinfekisoni okuli ez’amaaso, amatu, omusaayi n’endala.

Mu mbeera eno tutabudde butto omupya mu Uganda akuyamba ku ndwadde omuli n’omusujja ogw’ebika eby’enjawulo. Olw’okuba butto ono muka, akuyamba mu ngeri ezitali zimu okuli;  lAyamba ku ssennyiga n’ekifuba.

Onywa amatondo 5 omukulu ate omwana 2 mu mazzi agabuguma oba okunuusa mu nnyindo. lMukozese ku ndwadde z’ekikaba okuli kandida, kabootongo, ensundo ezikwata wansi mu bakyala n’endala eziva mu biyigo.  lAkola ku kisipi, edda nga tulowooza nti akwata balwadde ba siriimu bokka, wabula abantu abalina abaserikale abanafu mu kulwanyisa endwadde nabo abakwata, omwesiiga. 

Agoba oluwumu, ebisente, ebiguuna mu baana n’obuwere. Mutabule mu mazzi ge banaaba bagatteko n’okumunywa.  lAkola ku bantu abalina alusa, akafuba, ekiddukano n’abo abalidde emmere n’efuuka obutwa. 

Omukozesa mu kufuuyira ebiwuka n’endwadde za fango mu birime, otabula amatondo 20 mu liita 20 ez’amazzi ofuuyire. Aziyiza ebirime okuba nga tebikubwa  kikomo naddala ebirime ebimukwabwa ennyo nga ennyaanya, obutunda, bikaamulali n’ebirala. lMu nkoko ayamba ku nsotoka, kawaali, ekiddukano ozitabulire mu mazzi ne zinywe era akola ku nkoko ez’amagi n’ez’ennyama.  otabula amatondo 20 mu liita 20. 

Ku nte ayamba ku musujja gw’enkwa ate embizzi n’aziyamba ku biwuka mu lubuto n’omusujja gw’omu byenda.

Otabula amatondo 20 mu liita 20.  lAkozesebwa mu kutereka emirambo ne giba nga tegiwunya. Kuba atabikiddwaamu obuwoowo obw’enjawulo.    Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...