TOP

Kasirya Ggwanga avuluze ababaka ba Palamenti

By Muwanga Kakooza

Added 28th April 2018

Kasirya Ggwanga avuluze ababaka ba Palamenti

Kas2 703x422

Kasirye Ggwanga

MAJ. GEN.  Kasirye Ggwanga alangidde ababaka ba palamenti okwonoona ebiseera n’agamba nti mu kifo ky’okukola ebigasa  obudde obusinga babumala mu kwogera ,  ‘’kuzannya bubadi na kwerijjira mu ntebe’’.

Ggwanga era yalangidde eyali pulezidenti wa FDC Col. Kiiza Besigye nti ebiseera weyabeerera omukungu mu ggye lya UPDF nga bw’aba ne banne nga bagaba ttenda nga basooka kweggalira mu ofiisi.

Ggwanga yabadde ku leediyo ya FM emu mu Kampala ku wiikendi  ng’akubaganya ebirowoozo ku nsonga ezitali zimu n’alangira ababaka ba palamenti okudda mu kuzannya obubadi n’okwerijjira mu ntebe mu kifo ky’okukola ebintu ebitwala eggwanga mu maaso.

Ng’asoomozeddwa nti y’omu ku ‘babbye mu gavumenti’ Kasirye Ggwanga yagambye: ‘’ Mu maggye tolina w’obbira’’.

N’awa eky’okulabirako nti Besigye weyaberera omukungu avunaanyizibwa ku by’okugula ebintu by’amagye (chief of logistics) nga ye (Besigye ne banne) bwe baba bagaba ttenda bazooka kweggalira mu ofiisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans