TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Col.Dr Kizza Besigye ayogedde ku kuggala Nalufenya

Col.Dr Kizza Besigye ayogedde ku kuggala Nalufenya

By Kizito Musoke

Added 29th April 2018

Col.Dr Kizza Besigye ayogedde ku kuggala Nalufenya

Bes1 703x422

Besigye ng'ayogera ne bannamawulire

KYADDAAKI poliisi eggadde ekkomera ly’e Nalufenya mu butongole, eribadde litiibwa ennyo olw’ebikolwa by’okutulugunyizaayo abantu. Entegeka z’okuggala Nalufenya zaasooka kufulumizibwa Bukedde omwezi oguwedde, omuduumizi wa poliisi omuggya Martin Okoth Ochola bwe yategeeza basajja be nti kyatandikirako kuggalawo Nalufenya.

Ochola bwe yabadde mu kakiiko ka Palamenti k’ebyokwerinda yategeezezza nga bwe yabadde amalirizza entegeka z’okuggala Nalufenya kubanga abadde avumaganya poliisi. Patrick Onyango amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga yakakasizza nga Nalufenya bwe yaggaddwa mu butongole ku Lwokutaano. Onyango yagambye nti Nalufenya libadde kkomera erikuumirwamu abasibe ababa bakwatiddwa ku misango egy’amaanyi mu ggwanga lyonna.

Yategeezezza nti abasibe bonna ababaddeyo baatwaliddwa mu makomera gye baasooka okusibirwa nga tebannaleetebwa Nalufenya. Ate abaserikale nabo baagabiddwa mu bifo eby’enjawulo eby’e ggwanga.

 umbere lwe yaggyibwa e alufunye ngatwalibwa mu kkooti Mumbere lwe yaggyibwa e Nalufunye ng’atwalibwa mu kkooti.

We twagendedde mu kyapa ng’abaserikale bakyaliwo e Nalufenya naye nga bali mu ntegeka ezivaawo buli omu adde gye yava ekifo kiggalwe. Ku ntandikwa ya wiiki eno, Martin Ochola yakoze enkyukakyuka endala mu baserikale ba poliisi abawerera ddala 600 era agamu ku mannya g’abo abaakyusiddwa mwabaddemu n’ababadde baduumira e Nalufenya.

Bano kati baagabiddwa mu bifo ebirala gye bagenda okukolera. Onyango bwe yabuuziddwa oba Poliisi terina ntegeka zikozesa bifo birala gye banaatulugunyiza bantu yadde Nalufenya aggaddwa n’ategeeza nti enkola ya poliisi tekkiririza mu kutulugunya bantu era bafuba okulaba ng’ebikolwa bino bikomezebwa wonna mu ggwanga. Yayongeddeko nti poliisi ziddiziddwa obuvunaanyizibwa bw’okukola okunoonyereza ku misango gyonna era batwale n’abasibe mu kkomera awatali kubongerayo mu makomera malala.

BESIGYE AGAMBA TEKIJJA KUMALAWO KUTULUGUNYA Dr. Kizza Besigye eyali omukulembeze wa FDC yagambye nti okuggala Nalufenya tekijja kumalawo bikolwa bya kutulugunya bantu. Yagambye nti okutulugunya abantu kyafuuka kitundu kya poliisi era kizibu okubaawula.

Yategeezezza nti Nalufenya kibadde kizimbe era wakyaliwo ebifo ebirala we basobola okutulugunyiza abantu Nalufenya ne bw’abeera aggaddwa.

ABANTU BEEKOKKOLA NALUFENYA Omu ku baasibirwako e Nalufenya ataayagadde kumwatuukiriza alojja ebyamukolwako: “Bwe babeera baakakutuusa e Nalufenya basooka kukukwata ng’ekyatika nga bakuwembejja.

Bakubuuza ky’onaalya era n’obuugi bakusookeza mu bulimu amata. Entiisa gy’osooka okufuna bye bisenge eby’emirundi esatu bye bakuyisaamu nga bikutte enzikiza, wadde ng’obudde buba bwa misana. Ekisenge ekisooka kirina akamooli kamu akali waggulu ennyo era abasibe baakakazaako lya kamera.

Abasibe we babateeka wano bamanyi okulinnya ku bannaabwe ku kibegaabega ne basobola okulaba ebifa ebweru, naye ng’ekinene baba balengera mmotoka eziyita mu luguudo. Abakulira ekkomera omusibe omupya basooka kumubuuza oba ng’alina ekimuluma era abamu ku basibe basooka na kubajjanjabisa.

 haban enfuka ng alaga ebiwundu bye yafunira e alufenya Shaban Senfuka ng’ alaga ebiwundu bye yafunira e Nalufenya.

 

Ebisenge bingi mwe basibira abasibe nga beeyawudde era ne bwe babakwata olumu oyinza obutaddamu kulaba ku munno bwe baba babaawudde. Bw’oba oyagala okwetaawuluza olina okukonkona ku lujji, olwo omusirikale n’akuggulira ate naye n’akonkona omulala okutuusa lwe bakuyisa mu bisenge eby’emirundi esatu.

Ebiseera by’emisana mubeera bulungi nnyo, kyokka ekiro wakati w’essaawa 6:00 ne 9:00 mu ttumbi obudde buddaku bunnaabwo. Abasibe be beetaaga okuggyamu ebyama bayitibwa ne batwalibwa mu maaso g’abaserikale ba poliisi.

Mu kiseera kino baleeta owa kkamera n’atandika okukwata buli kimu ekiba kinnyonnyolwa. Ssinga omusibe agezaako okubuzaabuza ng’ayanukula ebitamatiza ku nsonga gye balinako obukakafu nti ogimanyiiko wano w’ofunira obuzibu.

Empi, emiggo, ne bbatuuni ziggyibwayo. Olw’okuba omusibe abeera tawuliziganya na bantu bali bweru, abaserikale buli kiseera babeera bagamba nga bwe baafunye abantu abakulumiriza okuzza omusango.

Abasibe babadde bamanyi okubaggyayo ne babatwala mu bifo ebirala okuli e Buikwe mu kifo ekyekusifu awamu ne Kololo ku Special Operations Unit ekibadde kikulirwa Nickson Agasirwe.

Ekkomera lino lirimu empuku ennene era muno mwe mutera okuteekebwa abasibe ab’omutawaana n’afuna ekifaananyi nti obulamu bwe bukomye. Waliwo n’enkola y’okukoonyesa abasibe ku masannyalaze ne gabakuba, awamu n’okubookesa ebintu nga ppaasi. Kino kikolebwa ku muntu gwe bagamba eyazza omusango ogwa nnaggomola ng’okutta oba okulya mu nsi olukwe.

EBIKWATA KU NALUFENYA Ekkomera lino ligambibwa nti lyazimbibwa Pulezidenti Idi Amin mu myaka gya 1970 n’e kigendererwa ky’okusibiramu abantu ab’omutawaana kyokka oluvannyuma yafuulibwa poliisi eya bulijjo. Kyokka mu 2002 ekitongole kya Operation ekyali kikulirwa Brig Elly Kayanja bwe kyatandika baasalawo okuteeka amakanda e Nalufenya.

Abantu bwe beemulugunya ennyo olw’okutuluguyizibwa, Wembley yasattululwa ne bakisikiza Violent Crime Crack Unit. Erinnya lyaddamu ne likyusibwa mu 2007 ne balifuula Rapid Response Unit. Mu December wa 2011 ekitongole kyafuulibwa Special Investigations Unit n’oluvannyuma ekyafuuka Flying Squad.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...

Sseka 220x290

Abaatemyetemye ssemaka ne banyaga...

Baamutemyetemye ebiso ne bamusaba ssente zaalina kwe kuzibawa ne mukazi we ne bamuyisaamu ensambaggere olwo ne...