TOP

Syria ezzeemu okukuba Amerika awabi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th April 2018

Syria ezzeemu okukuba Amerika awabi

Deb2 703x422

Assad owa Syria ng’abuuza ku bagenero be.

AMAANYI Pulezidenti Al Bashar Assad g’atadde ku bayeekera abawagirwa Amerika gatiisizza Trump. Mu bbanga lya nnaku bbiri mu wiiki eno, yazzeemu n’asitula emizinga egyamuweereddwa Russia n’abakuba kwagala kubamala mu bitundu by’e Aleppo nga bw’akangaza nti abawadde wiiki emu nga baamuse Syria. Amerika okusooka yalowoozezza nti ennumba ze yakola wiiki bbiri eziyise zaasannyalazza Assad. Amerika yalowoozezza nti Assad gamuwedde.

Era yayimirizza ennumba zonna ng’ewadde omukisa abakungu b’ekibiina ky’amawanga amagatte okuzuula engeri Assad gye yakubamu abantu be obutwa mu kitundu ky’e Douma.

Ku Lwokubiri, Assad yasitudde ennyonyi okuli bbomu ne mizayiro ne zikuba abayeekera bano ne zibattamu abawera mu kitundu ky’e Yarmuka. Ku Lwokuna Assad yazzeemu okulumba abayeekera bano mu bitundu bya Aleppo n’abakuba n’okwonoona enfo zaabwe n’ebyokulwanyisa ebimu bye balumiriza nti Amerika y’ebibawa. Ttivvi y’eggwanga yategeezezza nti abayeekera bangi abattiddwa era n’eraga n’ebifaananyi by’erikka eryabadde liva mu bizimbe ebyakubiddwa.

Obulumbaganyi buno obwokubiri mu wiiki emu bwongedde okuwa Putin enkizo mu Lutalo kuba alweyambisizza okugezesa ebyokulwanyisa bye eby’omulembe ennyo. Ku ntandikwa ya wiiki eno, Genero mu magye ga Amerika aduumira olutalo e Syria yategeezezza nti bazudde nti Russia erina tekinologiya ow’omulembe gw’ekozesa omuli n’okukubisa abajaasi baabwe amasannyalaze era abawera 13 baabadde bamaze okufuna obuvune ku mubiri naddala ku maaso.

Abayeekera abaagala okuwamba gavumenti ya Syria bamaze ebbanga okuva mu 2015 nga baawamba ebitundu bye Hajar al- Aswad ne Yarmuk ate ng’omwezi oguwedde baawamba ekitundu ekirala ekya Qadam.

Ekitongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya ‘The Syrian Observatory for Human Rights’ kyategeezezza nti amagye ga Gavumenti gezzizza ebizimbe n’enguudo eziwerako mu kitundu kye Hajar al-Aswad ne Qadam. 152 bafiiridde mu bulumbaganyi Abajaasi ba Gavumenti 74 n’abayeekera b’akabiina ka IS abawera 59 kigambibwa okubeera nga baafiiridde mu bulumbaganyi buno.

Abantu baabulijjo 19 bagambibwa okuba nga nabo baafiiridde mu bulumbaganyi buno. Olutalo luno olwatandika mu 2011, lufiiriddemu abantu abawera emitwalo 35 ate abasoba mu bukadde ne basigala nga babundabunda.

Amerika ng’eyambibwa banywanyi baayo okuli; Bungereza ne Bufalansa baalumba Syria ne basesebbula ebifo ebiwerako nga balumiriza Gavumenyi ye Syria okukuba omukka gw’obutwa mu bantu nga April 7, 2018. Baaleeta n’obutambi obwakwatibwa ng’abantu abalaajana.

Kyokka Russia erumiriza nti Gavumenti ya Syria bagiranga bwemage tekubanga ku bantu mukka gwa butwa. Obutambi obwafulumizibwa ng’abantu balaajana bagamba nti bwapangibwa bupangibwa Amerika. Mu kiseera kino embeera ya bunkenke era n’abaamawulire abasinga badduse e Syria okwetegula ekibabu. Batya nti ekiseera kyonna Amerika yandiddamu okuweereza ebikompola ku Syria. Kyokka ne Russia yalabudde dda nti tejja kusirika busirisi nga bakuba Syria nga bagiranga bwemage. Wadde tennaba kutandika kulwana butereevu naye yawadde Syria ebyokulwanyisa eby’omulembe ebisobola okutangira ebikompola bya Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA