TOP

Katikkiro alaze ekyawula mailo ku ttaka eddala

By Musasi wa Bukedde

Added 29th April 2018

Katikkiro alaze ekyawula mailo ku ttaka eddala

Hub3 703x422

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga annyonnyodde akakiiko k’ettaka enjawulo eriwo wakati w’ettaka lya mailo n’ebika ebirala n’obuzibu obuyinza okuvaamu singa baliwera.

Yagambye nti okusinziira ku ndagaano ya 1900, Kabaka yaweebwa mailo 350 era ye yekka akyalikuumye mu bujjuvu bwalyo ne mu mannya ge era kino kye kirikuumye okuwangaala okutuusa kati kubanga tosobola kumala gasala ku mailo n’olifuula ‘freehold’ oba ‘Customary’ kyokka nga ku bika ebirala kyangu nnyo.

Mu ndagaano eno omuntu okumuwa ekyapa ky’obwannannyini ku ttaka, kwajjirangako obukwakkulizo era nga bwe bukulema okutuukiriza lisobola okuggyibwako naye ku mailo tekwaliko bukwakkulizo y’ensonga lwaki abantu bagyagala okusinga ebika ebirala.

Mayiga yagambye nti obumu ku bukwakkulizo obwakuweebwanga kwalinga kuzimbako ddwaaliro, essomero oba ekintu kyonna era kino bwe kyakulemanga ng’aboobuyinza baddembe okulikuggyako naye bwe waweebwanga mailo wabeerangako mirembe era kati bw’osalawo okuggyawo mailo etalina bukwakkulizo obeera okotoggedde abantu.

Yagambye nti mailo ya njawulo kubanga essa ekitiibwa mu nnannyini ttaka n’abasenze era olw’obulungi bwayo n’engeri gy’ebaddewo emyaka, abaagisookako baatandikawo enkola eringa ey’ensikirano eraga engeri obwannannyini gye bubeeramu, enkozesa n’engeri gye linaasikirwamu mu ‘ligiimu’ za mailo ezirijja mu maaso ekitali ku bika birala.

Kizibu nnyo okuteebereza engeri ebintu bino gye biyinza okulambikibwamu n’okugattibwa mu bika ebirala nga erya liizi, ery’obwannannyini n’ensikirano singa mailo ebeera eggyiddwawo y’ensonga lwaki ne Amin bwe yawera mailo mu 1975, yawera kigambo naye ebyapa bya mailo byasigala bifuluma kubanga mailo erina ebirala kye bitalina. Ebika byonna byanjawulo era y’ensonga lwaki tosobola kuyita ttaka lya ‘Customary’ kuba lya ‘freehold’, awo obeera oleese obuzibu bwa maanyi.

Waliwo ebigambibwa nti engabanya y’ettaka mu ndagaano ya 1900 teyali ya bwenkanya nti singa mailo ewerebwa obutali bwenkanya bujja kuba bumaliddwaayo ekitali kituufu kubanga ettaka lya Kabaka erya mailo kutuddeko abantu bangi nga n’abasinga si Baganda ate nga tewali abagobaganya. Uganda erina ebika by’ettaka bina omuli ‘Freehold, ‘Customary’ erya liizi ne mailo.

Mu lipooti y’omulamuzi Catherine Bamugemereire akakiiko kagamba nti ebika bino bikendeezebwe bifuuke bisatu omuli ‘customary’, ‘Freehold’ ne liizi ekintu ekitaasanyusa Buganda ng’egamba nti bandiba nga bali ku kakodyo kaakuggyako Kabaka ttaka.

Mayiga eyakulembeddemu ekibinja okuva e Mmengo omwabadde Omulangira David Wasajja, Apollo Makubuya , David Mpanga n’abalala yawadde akakiiko amagezi nti ensonga y’okuggyawo mailo bagiveeko kubanga egenda kwongera kusajjusa nkaayana n’entalo ku ttaka mu kifo ky’okuzimalawo wabula balagire gavumenti ekomyewo ebintu bya Buganda, erwanyise enguzi n’okukendeeza ku ofiisi n’ebitongole ebikola ku nsonga z’ettaka era kawe Gavumenti amagezi okwesonyiwa okukola ennongoosereza mu tteeka eriruubirira okutwala ettaka ly’abantu nga tebasoose kusasulwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup

Human 220x290

Rema atambula akaada: Abatimbi...

Ebimu ku binaakozesebwa mu kwanjula kwa Rema Namakula bitandise okutuuka awanaabeera omukolo.

Got2 220x290

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina...

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe

Hit2 220x290

Maama tonzita ebbinika nagiryamu...

Maama tonzita ebbinika nagiryamu ekikomando

Basezone3 220x290

Enseenene: Omugano gwa November...

AKEETALO akali mu Kampala n’emiraano kati ka nsenene. Enseenene kye kimu ku by’okulya ebisinga okuwoomera Bannayuganda...