TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Abazadde mumanye emikwano abaana bammwe gye babeera nagyo’

‘Abazadde mumanye emikwano abaana bammwe gye babeera nagyo’

By Musasi wa Bukedde

Added 29th April 2018

‘Abazadde mumanye emikwano abaana bammwe gye babeera nagyo’

Fub2 703x422

Nsobya ( ku ddyo) ng’ayogera n’abatuuze b’e Kabalagala.

POLIISI ewadde abazadde amagezi okumanya mikwano gy’abaana baabwe naddala abavubuka okusobola okubaziyiza okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka. Ng’ayogera eri abatuuze b’e Kabalagala, Hussein Nsobya okuva mu kitongole kya poliisi ekirwanyisa obutujju yagambye nti; abaana naddala obuvubuka beetaaga okussaako eriiso ejjoji baleme kusendebwasendebwa bantu bakyamu kubeegattako.

N’agamba nti abantu abakyamu babasuubiza okubawa ebintu ebirungi naddala bye basinga okwetaaga nga kino bakikola okubayingiza mu bibinja byabwe eby’abamenyi b’amateeka. “Kino ekiseera kye tulimu kizibu kuba waliwo abeegwanyiza n’okutuukiriza ebigendererwa byabwe ng banoonya abavubuka abangu b’okumatiza ne babakozesa bye baagala. Yagambye nti abazadde balina okwogera n’abaana baabwe buli kiseera okumanya embeera gye bayitamu babatangire okugwa mu buzibu.

Yategeezezza nti, abavubuka bangi babeera baagala ssente nga bwe wabaawo azibawa oba azibasuubiza kyangu okubakozesa by’ayagala. Yagasseeko nti, omuzadde yenna omwana we bw’atasula waka aleme kukitwala nga kya kusaaga wabula afeeyo okuzuula gye yasuze kuba eyinza obeera n’abantu abakyamu.

Nsobya yagambye nti, waliwo abavubuka be baanunula nga baali batendekebwa e Congo, Mubende ne Buvuma. Yagasseeko nti n’obutabanguko mu maka nabwo buvaako abaana okwekyawa ne badduka waka n’akkakkana ng’afunye emikwano egitali mirungi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...