TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebinuubule n’ebifuniddwa updf mu myaka 11 e Somalia

Ebinuubule n’ebifuniddwa updf mu myaka 11 e Somalia

By Ahmed Mukiibi

Added 29th April 2018

Ebinuubule n’ebifuniddwa updf mu myaka 11 e Somalia

Pd1 703x422

Emirambo gy’abamu ku baserikale ba UPDF abattibwa aba al Shabaab.

Bya Ahmed Mukiibi ne Stuart Yiga

EMYAKA 11 amagye ga UPDF gye gaakamala mu Somalia, bingi ebituukiddwaako naddala okufufuggaza abatujju aba al Shabaab n’okutebenkeza Somalia, kyokka ebyo bituukiddwaako si ku mukeeka wabula mu kusoomooza okw’amaanyi okubaddemu n’okuyiwa omusaayi gw’abajaasi baffe.

Obuwanguzi Uganda bw’etuuseeko buvudde ku bukulembeze obunywevu obw’amagye ga UPDF okuviira ddala ku muduumizi ow’oku ntikko Gen. Yoweri Museveni, abaduumizi ba UPDF ababaddewo okuva mu 2007 okwali omugenzi Gen. Aronda Nyakairima, Gen. Edward Katumba Wamala eyaduumira UPDF okuva 2013 okutuuka January 2017, olwo Gen. David Muhoozi n’amuddira mu bigere.

ABAZZE BADUUMIRA UPDF E SOMALIA OKUVA MU 2007:

Eggye ly’omukago gwa African Union Mission in Somalia (AMISOM) mu kiseera kino nga liweza abajaasi nga 22,000 okuli aba Uganda, Kenya, Burundi, Djibouti, Ethiopia ne Sierra Leon.

Munnayuganda Lt. Gen. Jim Beesigye Owoyesigire y’aduumira amagye aga Amisom mu kiseera kino nga ye muduumizi owa Amisom owa 11. Abalala abaduumidde eggye lya Amisom ye: Maj. Gen. Nathan Mugisha, Lt. Gen. Andrew Gutti, Maj. Gen. Fred Mugisha, ne Maj. Gen. Francis Okello.

Omugenzi Maj. Gen. Levi Karuhanga nga ye yasookera ddala okuduumira Amisom mu 2007.

 musasi wa ukedde owookubiri ku kkono ngaliko byabuuza abamu ku bakyala abamuddiridde abaagenze e omalia okukuuma eddembe Omusasi wa Bukedde (owookubiri ku kkono) ng’aliko by’abuuza abamu ku bakyala (abamuddiridde) abaagenze e Somalia okukuuma eddembe.

 ABADUUMIZI B’AMAGYE GA AMISOM AB’OKU NTIKKO OKUVA 2007

1 Maj. Gen. Levi Karuhanga Uganda, February 14, 2007 2 Maj. Gen. Francis Okello Uganda, March 3, 2008 3 Maj. Gen. Nathan Mugisha Ebinuubule n’ebifuniddwa updf (62), (Uganda), July 7, 2009 4 Maj. Gen. Fredrick Mugisha (Uganda), June 15, 2011 5 Lt. Gen. Andrew Gutti (Uganda) May 3, 2012 6 Lt. Gen.

Silas Ntigurirwa (Burundi) December 16, 2013 7 Lt. Gen. Jonathon Kipkemoi Rono (Kenya) December 2014 8 Maj. Gen. Nakibus Lakara (Uganda), December 2015 9 Maj. Gen. Mohamedesha Zeyinu, (Ethiopia), March 2016 10 Lt. Gen. Osman Noor Soubagleh, (Djibouti) July 18, 2016 11 Lt. Gen. Jim Beesigye Owoyesigire (Uganda), January 31, 2018.

ABAJAASI BA AMISOM ABALI MU SOMALIA

Uganda 6,223 (bajaasi) 201 (poliisi) lBurundi 5,432 (bajaasi) 95 (poliisi) lEthiopia 4,395 (bajaasi) lKenya 3,664 (bajaasi) 48 (poliisi) lDjibouti 2,000 (bajaasi) lSierra Leone 850 (bajaasi) lNigeria 200 (poliisi) lGhana 56 (poliisi) ABA UPDF 50,000

BAFUNYE OBUKODYO E SOMALIA Okusinziira ku likodi za UPDF, abajaasi abasoba 50,000 be baakatwalibwa e Somalia nga bwe bakomawo mu myaka 11 okuva mu March 2007. Uganda yasooka okutwala abajaasi 14,000 mu Somalia ne bagenda nga bongerwako wabula abamu babadde baggyibwayo oluvannyuma lw’okufuna obukodyo ne badda ate ebibinja ebirala ne bitwalibwayo .

Emyaka 10 egya UPDF we gyawerera mu Mach 2017 ng’abajaasi 44,999 be baakayita e Somalia, kyokka mu kiseera kino ng’emyaka 11 giweze, abajaasi aba UPDF abaakayitako mu Somalia basoba mu 50,000.

Omuwendo gw’abajaasi ba UPDF gwatandika okulinnya okuva mu mwaka gwa 2010, oluvannyuma lw’abatujju ba al-Shabaab okunyiikirira okukola ennumba ez’enjawulo ku nkambi za UPDF n’amagye ga gavumenti ya Somalia.

Mu mwaka gwe gumu, omuwendo gw’abajaasi gwalinnya okuva ku 1,600 okutuuka ku 4,723. Mu mwaka 2011, abatujju ba Al-Shabaab baayongera okulumba UPDF era embeera eno yaviirako omuwendo gw’abajaasi okwongezebwako okuva ku bajaasi 4,723 ne batuuka ku 6,223. Kino kyayamba UPDF okwongera okukola ebikwekweto ne bafuluma n’ekibuga Mogadishu. Omuwendo gw’abajaasi ba UPDF gwasigala gwe gumu okutuusa mu 2014, abamu lwe baakendezebwako ne basigala 6,040

 ol ackson ayanja wookusatu okuva ku kkono eyalondeddwa okuduumira ekibinja ekya 24 nga yeesanyusaamu nabaserikale be Col. Jackson Kayanja (Owookusatu okuva ku kkono) eyalondeddwa okuduumira ekibinja ekya 24, nga yeesanyusaamu n’abaserikale be.

ABAZZE BADUUMIRA EBIBINJA BYA UPDF MU SOMALIA OKUVA 2007

1 Col. Peter Elwelu March 2007 2 Col. Godfrey Golooba, February 2008 3 Col. Jack Bakusumba, December 2008 4 Col. Tumusiime Katsigazi, September 2009 5 Col. Michael Ondoga, June 2010 6 Brig. Gen. Paul Lokech, May 2011 7 Brig. Gen. Michael Ondoga, November 2012 8 Brig. Gen. Deus Sande, September 2013 9 Brig. Gen. Dick Olum, September 2013 10 Brig. Gen. Sam Kavuma October 2014 11 Brig. Gen. Sam Okiding, November 2015 12 Brig. Gen. Kayanja Muhanga , January 2017 13 Brig. Gen. Paul Lokech, December 2017 ENSASULA Y’ABAJAASI Buli wa UPDF ali mu Somalia, omwezi afuna doola 868 (eza Uganda 3, 038,000/-). Ku ssente zino, gavumenti efunako doola 200 (eza Uganda 720,000/-) okuva ku buli mujaasi. Kino kitegeeza nti, buli mujaasi afissa doola 668 buli mwezi.

Mu kusooka wakati w’emyaka 2012 ne 2014, buli mujaasi yali afuna doola 1,028 kyokka ekibiina ky’omukago gwa Bulaaya (European Union) nga kino kye kisinga okuvujjirira omukago gw’amawanga ga Afrika (AU) ensimbi, kyasala ku buyambi bwe kyali kiwa eggye lya AMISOM, ebitundu 20 ku 100, olwo ssente ne zikendeezebwa ku buli muserikale.

SSENTE UGANDA Z’ENOZE E SOMALIA Uganda ku bajaasi abasukka mu 6,000 abali mu Somalia, gavumenti efuna doola 1,208,000, buli mwezi okuva mu ssente ezisalibwa ku buli muserikale. Ku ntandikwa y’omwaka gwa 2007, gavumenti yali eggya doola 100 ku buli doola 500buli mu-jaasi ze yali afuna. Oluvannyuma, ssente ezisasulibwa buli mujaasi zaayongezebwa ne zituuka ku doola 800 mu mwaka gwa 2009, n’oluvannyuma ne zituuka ku doola 1,028, mu mwaka gwa 2012.

Okwongezebwa kw’omusaala gw’abajaasi abali e Somalia kyawaliriza gavumenti nayo okwongeza ku ssente eziggyibwa ku buli mujaasi waayo ne zituuka ku doola 200, era nga buli mujaasi asigaza doola 828, wakati w’omwaka 2012 ne 2015. Kino kitegeeza nti mu myaka 10, egiyise, gavumenti esobodde okulobola doola 90,892,800 (mu za Uganda, bwe buwumbi 319). Ng’oggyeeko emisoso emirala gyonna, mu myaka ekkumi egiyise, abajaasi baffe wonna awamu basobodde okuleeta mu ggwanga doola obukadde 385, (mu za Uganda obuwumbi 1,347).

Gavumenti era buli lunaku kigambibwa nti efuna doola 6, buli lunaku ku buli mmundu ey’ekika kya ‘Sub-Machine Gun’ (SMG), okuva mu kibiina ky’Amawanga amagatte (UN), kw’ogatta ssente endala ekibiina kya UN kye zisasula UPDF ku buli ssasi eriba likubiddwa. Okusinziira ku ndagaano eyakkaanyizibwako era n’essibwako emikono wakati w’ekibiina ky’Amawanga amagatte (UN) ne gavumenti ya wano, UPDF y’erina okulabirira ebyokulwanyisa byayo byonna.

Wabula ensonda zigamba nti, eby’okulwanyisa ebyamaanyi ennyo okugeza ttanka, zo tezisasulibwa kibiina kya UN kubanga zo tezaateekebwa ku lukalala lwa byakulwanyisa ebyakkiriziganyizibwako mu ndagaano eyakolebwa wakati wa UPDF ne UN e Somalia. Okunoonyereza kulaga nti ezimu ku ssente UPDF ze yafuna okuva mu UN ez’okusasula eby’okulwanyisa ze zimu kw’ezo ezeeyambisibwa mu kuzimba eddwaaliro ly’e Mbuya eribalirirwamu obuwumbi 100.

OBUWANGUZI OBUTUUKIDDWAAKO Okuva mu 2007, abaduumizi ba al Shabaab ab’oku ntikko battiddwa mu nnumba ezikoleddwa amagye aga AMISOM oluusi nga gayambibwako ennyonnyi za Amerika ezeevuga zokka ‘Drones’. Si baduumizi ba al Shabaab bokka be battiddwa wabula n’abalwanyi abasoba mu 4,000 battiddwa era mu kiseera kino al Shabaab banafuyiziddwa nnyo.

ABADUUMIZI ba Al Shabaab abazze BATTIBWA

1 Moktar Ali Zubeyr ‘Godane’ yattibwa ennyonyi za Amerika mu September 2014 2 Aden Hashi Farah ‘Ayro’ yattibwa mu 2008. 3 Fazul Abdullah Mohammed yattibwa mu 2011 4 Ibrahim Haji Jama Mee’aad ‘al-Afghani’ yattibwa mu 2013. 5 Tahliil Abdishakur yattibwa mu 2014 6 Yusuf Dheeq yattibwa nga February 6, 2015 mu bulumbaganyi bw’ennyonyi za Amerika 7 Aden Garaar yattiddwa nga March 13, 2015. 8 Mohamed Musa yattiddwa mu April 2015.

ABAJAASI ABAZZE BALU MIZIBWA N’OKUTTIBWA E SOMALIA: Amagye ag’omukago gwa AMISOM omuli aga Uganda, Kenya, Burundi, Ethiopia, Djibouti ne Sierra Leon gaakafiirwa abajaasi abasoba mu 1,200 okuva misoni ey’okuzza emirembe mu Somalia lwe yatandika mu 2007.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yategeezezza Bukedde nti, tewali muwendo gwa bajaasi mutuufu kw’abo abazze bafiira e Somalia, gwe bayinza kulaga olw’ensonga nti, singa bakikola kiyinza okwennyamiza ab’ehhanda z’abaafa oba okulumizibwa, emitima, ekintu ekitali kirungi. “Omujaasi okugenda mu lutalo asuubira okuwona, okufuna obuvune oba okufa noolwekyo, si nkola yaffe kulaga bafudde era teri ggwanga likikola nga ne mu ndagaano eyakolebwa wakati wa UN ne Uganda akawaayiro kano mwekali,” bwatyo Karemire bwe yategeezezza.

Wakati w’omwaka gwa 2007 ne 2015, eggye lya ‘Amisom’ kigambibwa nti wonna awamu lyafiirwa abajaasi abakunukkiriza mu 4,000, kyokka ensi ezirina abajaasi mu Somalia omuwendo guno bavaayo ne baguwakanya nti si mutuufu.

Waliwo bwiino eyasomolebwa ab’ekibiina kya ‘Stockholm International Peace Research Institute’ (SIPRI) mu kitabo byabwe kye baafulumya mu mwaka gwa 2009 ne 2014, ne Polof. Paul William, okuva mu ‘International affairs at George Washington University’ ng’alaga nti, wakati wa 2009 ne 2013, Amisom yafiirwa abajaasi abawera 1,039 ku 1,108.

EBIKOLOBERO bya AL SHABAAB

lDecember 2009: Al Shabaab baatega bbomu ku mukolojaasi ze yali afuna.

Oluvannyuma, ssente ezisasulibwa buli mujaasi zaayongezebwa ne zituuka ku doola 800 mu mwaka gwa 2009, n’oluvannyuma ne zituuka ku doola 1,028, mu mwaka gwa 2012.

Okwongezebwa kw’omusaala gw’abajaasi abali e Somalia kyawaliriza gavumenti nayo okwongeza ku ssente eziggyibwa ku buli mujaasi waayo ne zituuka ku doola 200, era nga buli mujaasi asigaza doola 828, wakati w’omwaka 2012 ne 2015.

Kino kitegeeza nti mu myaka 10, egiyise, gavumenti esobodde okulobola doola 90,892,800 (mu za Uganda, bwe buwumbi 319). Ng’oggyeeko emisoso emirala gyonna, mu myaka ekkumi egiyise, abajaasi baffe wonna awamu basobodde okuleeta mu ggwanga doola obukadde 385, (mu za Uganda obuwumbi 1,347).

Gavumenti era buli lunaku kigambibwa nti efuna doola 6, buli lunaku ku buli mmundu ey’ekika kya ‘Sub-Machine Gun’ (SMG), okuva mu kibiina ky’Amawanga amagatte (UN), kw’ogatta ssente endala ekibiina kya UN kye zisasula UPDF ku buli ssasi eriba likubiddwa.

Okusinziira ku ndagaano eyakkaanyizibwako era n’essibwako emikono wakati w’ekibiina ky’Amawanga amagatte (UN) ne gavumenti ya wano, UPDF y’erina okulabirira ebyokulwanyisa byayo byonna.

Wabula ensonda zigamba nti, eby’okulwanyisa ebyamaanyi ennyo okugeza ttanka, zo tezisasulibwa kibiina kya UN kubanga zo tezaateekebwa ku lukalala lwa byakulwanyisa ebyakkiriziganyizibwako mu ndagaano eyakolebwa wakati wa UPDF ne UN e Somalia. Okunoonyereza kulaga nti ezimu ku ssente UPDF ze yafuna okuva mu UN ez’okusasula eby’okulwanyisa ze zimu kw’ezo ezeeyambisibwa mu kuzimba eddwaaliro ly’e Mbuya eribalirirwamu obuwumbi 100.

 ba  nga boolekedde okulumba al habab e omalia Aba UPDF nga boolekedde okulumba al Shabab e Somalia.

 OBUWANGUZI OBUTUUKIDDWAAKO

Okuva mu 2007, abaduumizi ba al Shabaab ab’oku ntikko battiddwa mu nnumba ezikoleddwa amagye aga AMISOM oluusi nga gayambibwako ennyonnyi za Amerika ezeevuga zokka ‘Drones’. Si baduumizi ba al Shabaab bokka be battiddwa wabula n’abalwanyi abasoba mu 4,000 battiddwa era mu kiseera kino al Shabaab banafuyiziddwa nnyo.

ABADUUMIZI BA AL-SHABAAB ABAZZE BATTIBWA

1 Moktar Ali Zubeyr ‘Godane’ yattibwa ennyonyi za Amerika mu September 2014

2 Aden Hashi Farah ‘Ayro’ yattibwa mu 2008.

3 Fazul Abdullah Mohammed yattibwa mu 2011 4 Ibrahim Haji Jama Mee’aad ‘al-Afghani’ yattibwa mu 2013.

5 Tahliil Abdishakur yattibwa mu 2014 6 Yusuf Dheeq yattibwa nga February

6, 2015 mu bulumbaganyi bw’ennyonyi za Amerika

7 Aden Garaar yattiddwa nga March 13, 2015. 8 Mohamed Musa yattiddwa mu April 2015.

ABAJAASI ABAZZE BALU MIZIBWA N’OKUTTIBWA E SOMALIA:

Amagye ag’omukago gwa AMISOM omuli aga Uganda, Kenya, Burundi, Ethiopia, Djibouti ne Sierra Leon gaakafiirwa abajaasi abasoba mu 1,200 okuva misoni ey’okuzza emirembe mu Somalia lwe yatandika mu 2007.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yategeezezza Bukedde nti, tewali muwendo gwa bajaasi mutuufu kw’abo abazze bafiira e Somalia, gwe bayinza kulaga olw’ensonga nti, singa bakikola kiyinza okwennyamiza ab’ehhanda z’abaafa oba okulumizibwa, emitima, ekintu ekitali kirungi. “Omujaasi okugenda mu lutalo asuubira okuwona, okufuna obuvune oba okufa noolwekyo, si nkola yaffe kulaga bafudde era teri ggwanga likikola nga ne mu ndagaano eyakolebwa wakati wa UN ne Uganda akawaayiro kano mwekali,” bwatyo Karemire bwe yategeezezza.

Wakati w’omwaka gwa 2007 ne 2015, eggye lya ‘Amisom’ kigambibwa nti wonna awamu lyafiirwa abajaasi abakunukkiriza mu 4,000, kyokka ensi ezirina abajaasi mu Somalia omuwendo guno bavaayo ne baguwakanya nti si mutuufu.

Waliwo bwiino eyasomolebwa ab’ekibiina kya ‘Stockholm International Peace Research Institute’ (SIPRI) mu kitabo byabwe kye baafulumya mu mwaka gwa 2009 ne 2014, ne Polof. Paul William, okuva mu ‘International affairs at George Washington University’ ng’alaga nti, wakati wa 2009 ne 2013, Amisom yafiirwa abajaasi abawera 1,039 ku 1,108.

EBIKOLOBERO BYA AL SHABAAB

December 2009: Al Shabaab baatega bbomu ku mukoloogw’amatikkira mu kibuga Mogadishu ne batta 23 okwali ne baminisita bana n’abayizi abaali batikkirwa 19.

July 2010: Al Shabab baatega bbomu mu Kampala mu bantu abaali balaba omupiira ne batta abantu 79 n’okulumya abasoba mu 100. lMarch 2012: Abantu mukaaga battibwa bbomu aba al shabaab gye baatega mu bbaasi mu kibuga Nairobi.

September 2012: Aba al Shabaab baatega bbomu mu wooteeri mu kibuga Mogadishu omwali Pulezidenti wa Somalia, Hassan Sheikh Mohamud ne batta abantu munaana n’okulumya abalala 40.

April 2013: Al Shabab batta abantu 30 mu kirabo ky’emmere mu kibuga Mogadishu. lNovember 18, 2013: Abantu kkumi battibwa n’abalala 25 baalumizibwa aba ala Shabaab bwe baatega bbomu ku bbaasi mu kibuga Nairobi.

December 7, 2013: Abantu bataano battibwa bbomu mu muzikiti mu kibuga Nairobi. lSeptember 21, 2013: Aba al Shabaab baakoze obulumbaganyi ku Kenya ne batta abantu abasoba mu 70 n’okulumya 175 ku kizimbe Westgate Shopping Mall kye baawamba okumala ennaku nya. lApril 2015:

Al Shabaab baakola obulumbaganyi ku Garissa University College nga ttabi lya Moi University erisangiba okumpi n’ensalo ya Kenya ne Somalia ne batta abayizi 148, abalala 165 ne batuusibwako ebisago eby’amaanyi.

June 2015: Al Shabaab batta abajaasi ba Burundi 50 mu bulumbaganyi bwe baakola ku nkambi yaabwe esangibwa ku kyalo Lego, ekyesudde mayiro 62 mu bukiikaddyo bw’ekibuga Mogadishu, lSeptember 2016: Al-Shabaab baalumba ku nkambi y’amagye ag’omukago gwa Afrika ga AMISOM mu Somalia ne batirumbula abajaasi abagambibwa okusoba mu 70.

Enkambi ya AMISOM erumbiddwa abatujju ba al Shabaab ekisangibwa mu kabuga k’e Janaale akeesudde kkiromita 90 (mayiro 55) mu bukiikaddyo bw’ekibuga Mogadishu June 2016: Al Shabaab bakola olulumba ku wooteeri gaggadde mu kibuga Mogashihu ne batta abantu 15 omuli Minisita.

April 1, 2018: Okulwana okw’amaanyi wakati w’amagye ga UPDF n’abatujju aba al Shabaab mu kitundu ky’e Bulomarer mayiro nga 93 mu bukiikakkono obw’ekibuga Mogadishu kwafiiriddemu abajaasi ba UPDF munaana kyokka aba al Shabaab nga 60 tebaalutonze n’ebyokulwanyisa byabwe ne biwambibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...