TOP

Poliisi y’e Nalufenya eggyiddwaako ebibaati

By Donald Kiirya

Added 30th April 2018

EBIBAATI ebimyufu ebyali bikubiddwa okwetooloola Poliisi y’e Nalufenya biggyiddwaawo mu kiro ekikesezza Ssande, era kati bw’oyitawo olaba bulungi munda.

Nalu0 703x422

Poliisi y’e Nalufenya bw’efaanana.

Okuva ebibaati bwe byakubwa ku poliisi eno, wabadde wassibwawo n’abaserikale abakuumawo ssaako n’ebimmotoka bimmamba ebibadde bikuumawo era nga tewali asaalimbirawo.

Gye buvuddeko, omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Okoth Martin Ochola yalagidde ekifo kino kiggyibweko ebibaati kisigale nga poliisi ya bulijjo nga bwe kyabanga.

Nalufenya abadde amanyiddwa ng’ekifo gye bakuumira abatujju, abeenyigira mu buyeekera, abapoliisi abazza emisango n’ababbisa emmundu.

Abamu kubaali basibiddwaako e Nalufenya kwe kuli Omusinga w’e Rwenzururu, Charles Mumbere, eyali DPC we Buyende Mohammed Kirumira, eyali akulira abayekera ba ADF Jamil Mukulu n’abalala.

Wansi mu bifaananyi, Nalufenya nga bw’efaanana

alt=''

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana